Omugenzi Zebib Solomon Kavuma.

Tekigasa Kuwangaala Ku Nsi Bbanga Ddene Nga Togasa-Katikkiro

1 minute, 6 seconds Read

“Okuwangaala emyaka emingi tekigasa nga tolina kyamakulu ky’okola mu bulamu, kye kiseera buli muntu omulamu olwaleero obeereko ky’okola ekiyamba ensi naawe ng’omuntu ssaako abakwetoolodde,” ebyo bye byabadde ebigambo bya Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga.

Okwogera bino, Katikkiro yabadde mu kusabira omugenzi Zebib Solomon Kavuma, abadde mukyala wa Paul Robert Kavuma mutabani w’omugenzi Owek: Godfrey Kaaya Kavuma e Mutungo mu Makindye Ssaabagabo.

Katikkiro Charles Peter Mayiga ne Nnaalinnya Lubuga Nabaloga.

Kamalabyonna yagambye nti ne wankubadde omugenzi afiiridde ku myaka 54, byakoze mu myaka egyo bibadde bingi era birese omukululo gwa maanyi mu b’enganda ze era abazadde basaanye okwebazibwa abaamukuza era ne bamusomesa n’afuuka omuntu ow’omugaso eri bbo nga ffamire ate n’eggwanga lyonna.

Yagambye nti: “Okuwangaala emyaka emingi nga obulamu tebwegombesa ssi kikulu, obulamu busobola okuba obutono naye byobukoleddemu kye kikulu.”

Zebib Solomon yafiiridde Nairobi-Kenya gy’abadde abeera n’omwami we wamu n’abaana.

Maama Nnaabagereka Sylvia Nagginda naye yeegasse ku bakungubazi ab’enjawulo abeeyiye e Mutungo mu maka g’omugenzi Owek: Godfrey Kaaya Kavuma, okusaasira ffamire olw’okufiirwa mukamwana Zebib Solomon Kavuma.

Maama Nnaabagereka Sylvia Nagginda nga yeegasse ku bakungubazi.
Abamu ku bakungubazi.

 

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!