Hajji Ssemakula ng'akwasa omu ku balema akagaali.

Abasiraamu Bagabidde Abaliko Obulemu Obugaali Bw’abalema

1 minute, 9 seconds Read

Abasiraamu ku muzikiti gw’e Ntaawo bagabidde abantu abaliko obulemu obugaali bw’abalema busatu okubayambako ku kizibu ky’entambula.

Monica Rwaheeru nga y’asakidde abalema obugaali buno asabye Abasiraamu ne Bannayuganda okwewala okuyisa mu balema amaaso ng’agamba nti bano okufuuka kye bali tebalina musango gwe bazza nti kati bsasula kibonerezo.

Bano obugaali bwabakwasiddwa mu kusaala Juma ku muzikiti gwa Masjid Muhajirana ogusangibwa ku kyalo Ntaawo mu kibuga Mukono.

Ate ssentebe w’Abasiraamu mu disitulikiti y’e Mukono Hajji Haruna Ssemakula yasabye abantu abaliko obulemu ku mibiri obutenyooma wabula beebaze Allah olw’obulamu bw’abawadde.

Nsambya Hospital Doctors Recommend Surgery for Bobi Wine

Hajji Ssemakula bano yabawadde amagezi okukozesa obulamu bwe balina okufuna kye bakola okusobola okufunamu ensimbi ezibabezaawo.

“Omuntu yenna bwe bukeera ng’okyali mulamu bulungi, eyo nsonga nkulu nnyo gy’olina okukozesa okwebaza Allah olw’ekirabo ky’obulamu. Bangi bafudde mu ngeri ezitali zimu omuli n’abafiira mu bubenje nga n’okusiibula tebasiibudde. Kati ggwe ssebo naawe nnyabo ali wano, omutonzi wo omuwadde ki okugira ng’okyassa,” Ssemakula bwe yababuuzizza.

Increasing Insecurity in Mukono; Who is Sleeping on the Job?

Ye akulira ba ma Sheikh mu kitundu kino Sheikh Abubakar Kayiwa yasiimye Monica Rwaheeru atali Musiraamu okusalawo okugabira abalema abasiramu obugaali n’asaba abalema ababufunye okubokozesa obulungi n’okubukuuma.

Kayiwa yategeezezza Abasiraamu nti batandiseewo kaweefube w’okunonya ensimbi ezisukka mu bukadde 100 okusobola okuzimba omuzikiti ogw’omulembe mu kifo kino.

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!