Lutikko y'e Lugazi, Mary Queen of Peace, waggulu ku ddyo (okuva ku kkono) Bp. Kakooza, Fr. Ndawula, bwanamukulu w'ekigo ky'e Naggalama ne Bp. Ssekamanya, omusumba omuwummuze.

By’obadde Tomanyi ku Ssaza Ly’e Lugazi Erikuliddemu Okulamaga e Namugongo

3 minutes, 18 seconds Read

Mu mwaka gwa 2022, essaza ly’e Lugazi lyajaguza jjubireewo olw’okuweza emyaka 25 nga lisomesa eddiini n’okuwa abantu ba Katonda obuweereza mu ngeri ez’enjawulo omuli n’amasakalamentu.

Fresh Charges Slapped On Agasirwe, Investigated Over Murder of Kaweesi, Muslim Sheikhs

Akeetereekerero ka maanyi ku kiggwa ky’Abajulizi e Namugongo, ng’Abakkristu beeteekerateekera okulamaga kw’omwaka guno. Ku nguudo ez’enjawulo ez’olekera ku biggwa by’abajulizi okuli eky’Abakatoliki n’Abakulisitaayo, zonna zikwatiridde abalamazi abamaze ebbanga mu kkubo nga batambula okwolekera Namugongo gye bagenda okusaba Katonda nga bayita mu bajulizi okubaako ebirungi by’abatusaako mpozzi n’abo abafumbekedde mu bizibu ebitali bimu okubibawonya.

Essaza lya Klezia ery’e Lugazi, erikulemberwa Omusumba Christopher Kakooza lye likulembeddemu okulamaga kw’omwaka guno.

Okutondawo essaza lino, kwali kusiima na kulungamizibwa kw’eyali Paapa mu kiseera ekyo nga mu kadde kano ye Mutuukirivu Pope John Paul II mu mwaka gwa 1997 eyakkiriza essaza ly’e Lugazi litandikibwewo nga lyetongola okuva ku ssaza ekkulu ery’e Kampala.

Essaza lino likolebwa disitulikiti nnya okuli Mukono, Buikwe, Kayunga n’e Buvuma ng’ekitebe kyalyo ekikulu kisangibwa mu munisipaali y’e Lugazi mu disitulikiti y’e Buikwe.

Eklezia ya Lutikko ey’essaza lino eyitibwa Mary Queen of Peace, ng’eno eyooyooteddwa bulungi okutuukana n’ekitiibwa ky’essaza lino.

Ebyafaayo nga bwe byatunyumiriziddwa Harriet Ssamanya ng’abugaanye essanyu olw’omukisa gw’agamba essaza ly’avaamu gwe lyafunye okuba nga lye likulembeddemu okulamaga e Namugongo omwaka guno, ono yategeezezza nti essaza ly’e Lugazi lyatongozebwa mu butongole n’omusumba omuberyeberye, Mathias Ssekamanya n’atuuzibwa nga February 23, 1997.

Ssamanya ng’atuula ku lukiiko olukulu olw’emu ku parish 34 ezikola essaza lino ery’e Lugazi nga ye y’e Naggalama, yatutegeezezza nti oluvannyuma lw’okukulembera essaza okumala emyaka 17 bwe ddu, Omusumba Ssekamanya yawummula era Omutukuvu Paapa n’amusikiza Bp. Christopher Kakooza ng’ono okuva mu 2015 n’okutuuka olwa leero y’akyakutte enkasi ng’era y’agenda okukulembera emmisa ey’okulamaga ku lw’abajulizi e Namugongo nga June 3.

Mu mwaka gwa 2022, essaza ly’e Lugazi lyajaguza jjubireewo olw’okuweza emyaka 25 nga lisomesa eddiini n’okuwa abantu ba Katonda obuweereza mu ngeri ez’enjawulo omuli n’amasakalamentu.

Okuva ku kkono, Bp. Kakooza, Fr. Ndawula ne Bp. Ssekamanya mu kifaananyi.

Ssamanya era agamba nti ekigo ky’e Naggalama kye kimu ku bikulu ennyo mu ssaza lino ng’okuleka okuba nti kye kisinga obukulu oluvannyuma lw’okutandikibwawo abaminsani ba Mill Hill Fathers eyo mu myaka gya 1800, era kye kirimu abajulizi ababiri abasangibwa mu ssaza ly’e Lugazi. Abajulizi bano ye Ponsiano Ngondwe asibuka e Bulimu mu Kyaggwe ate ne Mukasa Kiriwawanvu ng’ono asibuka Nammere. Abajulizi bano bombi basibuka mu ggombolola y’e Kyampisi mu disitulikiti y’e Mukono.

Ng’akulembeddemu okulamaga ku kiggwa ky’omujulizi Ngondwe omwaka oguwedde mu November, Omusumba Kakooza yategeeza abakristu nti mu kiseera ekyo, essaza ly’e Lugazi lyali likolebwa parish 33 nga we twogerera nga ziri 34.

Agamba nti essaza era lirina amalwaliro ana (04) amanene ssaako obulwaliro obutono kkumi na kamu (11). Amalwaliro amanene kuliko; St. Francis Naggalama, St. Francis Nkokonjeru, St. Francis Nyenga ne St. Charles Lwanga Buikwe.

Bp. Kakooza era yategeeza nti essaza ly’e Lugazi liddukanya n’amasomero ga pulayimale 220, aga ssekandule 24 ssaako ettendekero ly’abasawo eriri e Nyenga ate ne sseminaliyo etendeka ba ffaaza eya Nyenga Seminary.

Obubaka bwa Ssaabakristu w’essaza, Dr. Augustine Kato eri abo bonna abeeteekaterateekera okulamaga e Namugongo omwaka guno kwe kufuba okulaba nga nabo babeera abajulizi mu bintu eby’enjawulo.

Kato agamba nti buli alina obuvaanyizibwa bw’akola, asaanidde okubukola ng’omulizi wa Katonda mu kifo buli omu mw’ali olwo naye abe ng’alimye olubimbi lwe ng’omujulizi mu ngeri ye.

“Alina obusobozi obuyamba bukole, omuzadde kuza bulungi abaana, omusomesa, omusawo na buli alina omulimu gw’akola agukole ewatali kwesaasira,” bwe yategeeza.

Ng’essaza likuza jjubireewo, ku mukolo ogwasitula ebikonge mu 2022, Bp. Ssekamanya yategeeza nti wadde essaza lirina sseminaaliyo, Abakristu mu ssaza tebajjumbidde kutwalayo baana kusoma kufuuka ba Ffaaza ng’eby’embi, ate abalaga obwagazi tebalina busobozi bwa nsimbi kubawerera kuyita mu mitendera gy’okutendekebwa.

 

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!