Katikkiro Charles Peter Mayiga mu mujoozi gwa Uganda Cranes.

Katikkiro Akunze Bannayuganda Okweyiwa e Namboole mu Bungi Okuwagira Cranes

0 minutes, 35 seconds Read

Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga akunze Bannayuganda okweyiwa e Namboole mu bungi okuwagira ttiimu y’omupiira ey’e ggwanga, Uganda Cranes ng’esamba mu gw’okusunsulamu abanaasamba mu mpaka za Africa ez’akamalirizo.

Uganda Cranes esamba Congo Brazaville akawungeezi ka leero (Monday) ku ssaawa emu nga gugenda kubeera ku bitaala. Katikkiro agamba nti omusambi ow’e 12 ye muwagizi ggwe naye (Katikkiro).

Munnamateeka wa NUP George Musisi Ajunguludde Eby’okwesimba ku Ssemujju e Kira

Katikkiro obubaka bwe abuyisizza ku mukutu gu mugatta bantu nga bugamba;

“Leero tulumbe ffenna e Namboole nga Uganda Cranes ezannya Congo Brazaville.

Omusambi owe 12, ye ggwe nange…!!! CPM”

Uganda Cranes yakoze amaliri ne South Africa ku bugenyi ku ggoolo 2 ku 2.

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!