Bazzukulu ba Gabunga ab’eddira Emmamba bafunye akaseko ku matama oluvannyuma lw’okufuna omutaka obbulukuse, ng’adda mu bigere by’omutaka omubuze, Mubiru Zziikwa.
Omutaka Ali Mubiru Zziikwa, Gabunga Omubbulukuse, nga y’azze mu bigere bya kitaawe, Gabunga Omubuze ayanjuliddwa Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga mu Bulange e Mengo olwaleero nga November 25, 2024.
Okusinziira ku Katikkiro, “Obuyinza bw’Omukulu w’Ekika mu Buganda buva wa Ssaabataka, era Gabunga Omubbulukuse nja kumwanjulira Nnyinimu.”
Asabye Omutaka omuggya okutambulira mu buwufu bwa Maasomoogi; okukumaakuma bazzukulu be; n’okukulaakulanya Ekika.
Mu kiseera kino, abakulu mu kika ky’Emmamba batandise ku nteekateeka z’okutereka Omutaka Omubuze mu kibira e Buwaya mu Busiro.
Omutaka yabula wiiki ewedde mu ddwaliro e Lubaga nga kyategeezebwa nti obulwadde bwa kasikonda bwe bwamuviirako akabasa akaamuletera okukkirira ewa Ssenkaaba, nga mu kiseera kino ono yagenda kulunda Mbogo oluvannyuma lw’eyiye efumba okuwunzikibwa.
Mukono NUP Leaders Defy Nambooze, Praise NRM Gov’t for Development