Pulezidenti Museveni Awadde Bannayuganda Essuubi ku Kumalawo Ebbula Ly’emirimu

0 minutes, 29 seconds Read

Omukulembeze w’eggwanga Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni awadde Bannayuganda essuubi ly’okumalawo ebbula ly’emirimu bw’ategeezezza nti agenda kubunyisa enjiri y’okulimira n’okulundira awafunda kubanga akizudde nti ekolera ddala.
Wano Museveni anokoddeyo omulunzi era omulimi w’e Fort Portal, Richard Nyakana awadde obujulizi nti ayingiza obukadde bw’ensimbi 180 omwaka okuva ku yiika emu gy’akozesa.
Pulezidenti agamba ssinga abantu bava mu ppokoppoko amaanyi ne bagamalira mu bulimi n’obulunzi nga bakozesa ssente za gavumenti z’ebawola, bajja kufaananako Nyakana batondewo emirimu egisinga ne Bannayuganda obungi.
Bino Museveni abyogeredde Nakapiripirit ku mukolo gw’okukuza olunaku lw’abakozi mu nsi yonna olw’omwaka 2025.

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!