“Mbikira Obuganda Nnaalinnya Gertrude Christine Nabanaakulya Tebattagwabwe aseeredde emisana ga leero. Enteekateeka z’okumutereka tujja kuzanjula mu maaso awo,” Obubaka bwa Katikkiro obubuka Nnaalinnya bwe yawandiise ku X.
Police Recover 3 Bodies From YY Bus Fatal Accident in Buikwe
Obuganda buguddemu ekikangabwa, olw’amawulire ag’ennaku ag’okufa kwa Nnaalinnya Gertrude Christine Nabanaakulya Tebattagwabwe.
Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga ye yabikidde Obuganda okuseerera kwa Nnaalinnya Tebattagwabwe emisana ku Mmande nga May 5, 2025 ng’ayita ku kibanja kye ekya mugatta bantu ekya X.
“Mbikira Obuganda Nnaalinnya Gertrude Christine Nabanaakulya Tebattagwabwe aseeredde emisana ga leero. Enteekateeka z’okumutereka tujja kuzanjula mu maaso awo,” Obubaka bwa Katikkiro obubuka Nnaalinnya bwe yawandiise ku X.
Nnaalinnya Tebattagwabwe yazaalibwa mu ddwaliro e Mengo mu August 20, 1964. Maamawe ye Margaret Nakato ow’e Nkumba mu ssaza lya Kabaka ery’e Busiro. Yakulira ku butaka bwa bajjajjaabe mu Buganda kyokka bwe yaweza emyaka mwenda n’aseeseetula ku bigere n’agenda e London mu England.
Yasoma bya kubala bitabo (accountant). Yakomawo e Uganda mu May wa 2013.
Eddie Mutwe Asimbiddwa mu Kkooti e Masaka-Embeera Ye Ekaabizza Abamulabyeko Amaziga!!!