“Kyewuunyisa nnyo okulaba nga Nambooze ku birungi by’afunye mu gavumenti ya NRM ekulemberwa Pulezidenti Museveni ng’akyasobola okuvaayo n’ayimirira ku kadaala n’avuma Museveni nga bw’akola nga takwatiddwa wadde ku nsonyi,” Speaker Among bwe yagambye.
Sipiika wa Palamenti, Nnaalongo Annet Anita Among yakawangamudde bwe yategeezezza wakati mu lujjudde lw’abantu era mu maaso ga Pulezidenti Museveni nti lwa Nambooze kudda ku Museveni n’amuvuma n’amwogoloza, Pulezidenti yakkiriza okuwa Nambooze ensimbi eziri eyo mu kawumbi okugenda ebweru mu America okujjanjabibwa bwe yavaayo n’ategeeza nti mulwadde.
Sipiika Among yagambye nti wadde nga yali asobola okugaana, Pulezidenti Museveni teyasimbira kkuuli kya palamenti kuwa Nambooze nsimbi ezaamusobozesa ye ne bba ssaako omukozi omu okugenda mu America okujjanjabibwa ne bamalayo kumpi mwaka Mulamba n’okusoba nga kuno kw’atadde n’okusasulwa omusaala gwe mu bujjuvu.


Okwogera bino, Among yabadde ku ssomero lya St. Joseph’s Mixed Primary School e Naggalama mu disitulikiti y’e Mukono ku Lwokutaano ng’ayogera eri abawagizi ba NRM abaakungaanye ku lukungaana lwa Museveni olw’okusaba obuwagizi okuddamu okukulembera Uganda ekisanja ekirala.
“Kyewuunyisa nnyo okulaba nga Nambooze ku birungi by’afunye mu gavumenti ya NRM ekulemberwa Pulezidenti Museveni ng’akyasobola okuvaayo n’ayimirira ku kadaala n’avuma Museveni nga bw’akola nga takwatiddwa wadde ku nsonyi. Alemererwa okulaga abantu by’abakoledde, n’adda ku Museveni ate amugaggawazza n’avuma! Bannamukono mutuweereze ku babaka abakozi abayinza okubaako enkulaakulana gye baleeta mu kitundu kyammwe okuleka omubaka akola ogw’okulwala buli kisanja nga Museveni bw’amujjanjaba ate bw’amala n’amuvuma,” bwe yategeezezza.
Nambooze ali ku kkaadi ya NUP akiikirira munisipaali y’e Mukono mu palamenti nga yaakamala ebisanja bina nga gye myaka 20 era mu kiseera kino asaba kisanja kya kutaano. Dr. Daisy Sarah Ssonko Nabatanzi ya’akutte bendera ya NRM nga y’ayagala okusiguukulula Nambooze, gw’agamba nti ye kizibu kya Mukono era nti ye agenda kusobola okuwonya Bannamukono ekizibu kino.

Among yagambye nti Mukono eyali etuuka ku lujjululiro mu kisanji ekyaggwa, mu kulonda okuwedde bwe yasuula ababaka bonna aba NRM n’ebasikiza aba NUP ne DP, yaviiramu awo bw’etyo n’ekifo ky’obwa minisita kye yalina n’ekifiirwa wabula n’alaga essuubi nti mu kulonda okubindabinda okubenda okubeerawo nga January 15, ssinga banaalonda Museveni ne bamuweereza n’ababaka ba NRM, ebyo ebyabaggyibwako baakuddamu okubifuna n’okusingawo.
“Nze we nnagendera mu palamenti nga Mukono erina Ronald Kibuule era nga Minisita naye nga musajja mukozi nnyo nga buli mubaka amwegomba, ab’e Nakifuma baalina Ying. Robert Kafeero Ssekitooleko ng’aliko akakiiko ka palamenti k’akiikirira, naye bonna mwabajjayo n’ebyo bye baasakiranga ebitundu byammwe we byakoma, kati ani yafiirwa?” bwe yeebuuzizza.
Among yagambye nti Pulezidenti Museveni musajja mukulembeze mulungi nnyo alina ekisa n’okusaasira eri abantu b’akulembera ate ne bakulembeze banne kuba ssinga tekyali ekyo, Bannamukono ebyo bye bafunye mu kisanji ekino omuli n’enguudo eza kkoolansi, ensimbi okuli ez’emyooga, PDM, amalwaliro agazimbiddwa, eddagala mu malwaliro n’ebirala byandibadde tebituuka.

“Olaba Pulezidenti olw’ekisa ate n’omutima omuzadde gw’alina, n’abakulembeze nga Nambooze abamuvuma asalawo n’akkiriza bajjanjabibwe ku nsimbi ye z’alinako obuyinza,” bwe yategeezezza.
Wabula omubaka Nambooze ne gye buli eno tannavaayo kwanukula Among olw’ebigambo ebyo bye yamwogeddeko wadde ng’era bino birudde nga byogerwa era tavangayo kubyegaana.
Bwe yatuuse ku babaka abali ku ludda oluvuganya Nambooze abalala, Among yagambye nti bano emisana balaga nga bwe batawagira Museveni naye bwe butuuka ekiro nti bagenda ne babaako bye bamusaba ebiyamba bbo ng’abantu ng’eby’embi bwe batuuka mu bantu nga babategeeza ng abwe batalina nsimbi kuba si ba NRM!

