Robert Peter Kabanda (wakati), omukwanaganya w'emirimu mu Greater Mukono nga yeebulunguluddwa abakulembeze abalala, ku kitebe ky'ekibiina e Mukono gye buvuddeko ng'ayogera eri ab'amawulire.

Aba NUP Babuliddwa Ababakwatira Bendera ku Bifo By’Abaliko Obulemu

2 minutes, 11 seconds Read

Kabanda yasomoozezza banna NUP naddala mu disitulikiti ey’e Mukono bakomye olugambo, entalo n’okwesongamu ennwe bwe baba banaasobola okutwala ekibiina mu maaso.

Mesach Ssemakula Avuddemu Omwasi ku Mpalana ya Stecia ne Maurine Nantume

Ng’ekiseera ky’okulonda ku bifo eby’obukiiko obw’enjawulo ku byalo kisemberedde, abakulembeze b’ekibiina kya National Unity Platform (NUP) mu Greater Mukono bali mu kutambula sserebu nga banoonya abanaabakwatira bendera ku bifo eby’enjawulo.

Wabula we butuukidde olwa leero, ng’abakulembeze bano bakkirizza nti wadde abifo by’abavubuka bifunye ababyegwanyiza bangi nnyo, ate bbyo ebifo by’abaliko obulemu mu disitulikiti ezigwa mu bbendobendo lino okuli Mukono, Buikwe, Kayunga ne Buvuma bikyabuliddwa abeesowolayo okubyegwanyiza.

Okusinziira ku nteekateeka ennambulukufu eyayisibwa akakiiko k’eby’okulonda mu ggwanga, okulonda kw’obukiiko bw’abantu abaliko obulemu kwa kubeerawo nga June 17, ku byalo eby’enjawulo.

Ngabi Nsamba Crowned Champions of Buganda BIKA Football Tournament 2025

Akakiiko k’eby’okulonda mu ggwanga ku ntandikwa ya ssabbiiti ene eggwako katandise okusunsulamu abantu abagenda okuvuganya ku bifo eby’enjawulo mu kulonda obukiiko bw’abakadde, abavubuka n’abaliko obukosefu ku mibiri ng’enteekateeka eno efundikira ssabbiiti ejja ng’ennaku z’omwezi 10 omwezi guno.

Okulonda obukiiko buno obw’ebibinja ku byalo okuli abantu abakuze mu myaka, abavubuka n’abo abaliko obukosefu ku mibiri kusuubirwa okutandika ng’ennaku z’omwezi 16 okutuuka nga 18 omwezi guno ogw’omukaaga ng’akulira eby’okulonda mu disitulikiti y’e Mukono, Muganzi Mark Mayanja bwe yalambuludde.

Omukwanaganya w’emirimu gy’ekibiina kya NUP mu Bbendobendo lya Greater Mukono, Robert Peter Kabanda ng’asinziira ku kitebe ky’ekibiina ekisangibwa mu kibuga Mukono mu kutongoza kakuyege w’abavubuka yategeezezza nti okuva enteekateeka eno ey’okusunsulamu bwe yandika ku ntandikwa ya ssabbiiti eno, tebafunangayo muntu aliko bulemu ku mubiri yeesowolayo okukwatira ekibiina kino bendera okwesimbawo ku bukiiko bw’abantu abaliko obulemu mu byalo ebiri mu disitulikiti zino ennya ezikola Greater Mukono.

Agenda 2026: Ssebamala Alemeddeko, Yeerayiridde Okusuuza Mao Ekibiina Kya DP

Kabanda yategeezezza nti abakulembeze ba NRM, abaliko obulemu yonna gye bali baabeefunza nga babatambuliza mu nkwawa nga bwe babalimba kino na kiri ekyongedde okubakuumira emabega.

Kabanda yasomoozezza banna NUP naddala mu disitulikiti ey’e Mukono bakomye olugambo, entalo n’okwesongamu ennwe bwe baba banaasobola okutwala ekibiina mu maaso.

“Okubeerako omuntu wo gw’owagira kikkirizibwa, kyokka okutandika okutambuza ebigambo ebitabula abantu okuva kw’ono okugenda kw’oli kikyamu era tulina okukyewala. Ab’esimbyewo abamu batandise okukola enkambi, ze ndowooza nti zino tezeetaagisa mu kiseera kino kuba zigenda kutuyuzaayuzaamu ate mu kiseera we twetaagira okubeera obumu,” Kabanda bwe yategeezezza.

Ssentebe wa NUP mu munsipaali y’e Mukono era nga ye meeya wa divizoni y’e Goma, Kyasa Herbert Humphrey yagambye nti kaweefube gwe baliko kwe kuwangula ebifo byonna eby’abavubuka mu kulonda kuno okw’ebibinja okubindabinda.

Seeta University Set to Open in August, Enters Link With UK’s Teesside University

 

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!