Gavumenti Esabiddwa Okukyusa Ssemateeka mu Nnimi Ennansi

1 minute, 52 seconds Read

Abakulembeze obutayambako be bakulembera kumanya mateeka wamu ne ssemateeka w’eggwanga okubeera nga ali mu lulimi Luzungu nga luno luggwira Bannayuganda abasinga obungi lwe batasobola kusoma wadde okutegeera ze zimu ku nsonga ezinokoddwayo ezivuddeko obumenyi bw’amateeka mu ggwanga okwongera okwegiriisa ng’ekigota entula.

Wadde nga ne mu bamu ku bannakibuga Oluzungu lubagwa kkono, kitegeezeddwa nti ate bwe gutuuka ku bannakyalo olwo ate ne gubula asala. Eby’embi, kirambikiddwa bulungi nti obutamanya tebukuggyisaako musango na bwe kityo nga n’abo abazza emisango mu butamanya tekibalobera kuvunaanibwa mu mateeka gennyini ge batategeera.

Bino bituukiddwako mu musomo ogukulungudde ennaku ssatu ogwetabiddwamu abakulembeze ku mitendera egy’enjawulo, poliisi, ekitongole ky’amakomera ne bannaddiini okuva mu disitulikiti y’e Wakiso nga   gwategekeddwa ab’ekitongole kya Paradigm for Social Justice and Development (PSD) nga bayambibwako ekitongole ky’amawanga amagatte ekya Women’s Peace and Humanitarian Fund ku Kolping Hotel mu Kampala.

Hadijah Nansubuga munnamateeka okuva mu kitongole kya PSD agamba nti ssemateeka w’eggwanga asaanidde okukyusibwa mu nnimi ennansi. Nansubuga era agamba nti mu ngeri y’emu, gavumenti kigikakatako okulaba nga ssemateeka y’omu ateekebwa ne mu ngeri esobozesa abantu abaliko obulemu ku mibiri nga nga bamuzibe okumumanya ne bamutegeera bulungi kuba nabo ddembe lyabwe nga Bannayuganda. Ssemateeka ono yakolebwa mu mwaka gwa 1995 nga gye myaka 29 egiyiseewo.

Ssentebe w’akakiiko k’eddembe ly’obuntu mu disitulikiti y’e Wakiso, Elly Kasirye obuzibu abutadde ku palamenti y’eggwanga obutongera nsimbi bitongole ebyandibadde bivunayizibwa ku kukyusa ssemateeka okumuzza mu nnimi ennansi ng’amawanga amalala bwe gazzenga gakola.

Bbo abamu ku bakulembeze abeetabye mu musomo guno nga bakulembeddwamu ssentebe w’eggombolola y’e Bussi, Mukalazi Charles Ssenkaddwa ne Mathias Birungi Ssemujju amyuka ssentebe w’eggombolola y’e Mmende bagamba nti kikyamu okulaba nga gavumenti tevuddeyo kuyambako bantu kumanya mateeka nga kiviriddeko bangi okufundukira nga bali mu nkomyo ne mu minsago gye bandibadde beewala ssinga baba bamanyi amateeka.

Omusomo guno gujjidde mu kiseera nga akakiiko k’eddembe ly’obuntu kali mu kuteekateeka musomo ogukwata kuddembe ly’obuntu  eri abatuuze bonna mu Wakiso nga August 28, 2024 ng’omusomo guno gwakubeera ku kisaawe ky’essomero lya St. Charles Lwanga Primary School e Kawuku mu ttawuni kkanso y’e Kajjansi.

 

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!