Nga Bannayuganda bali mu keetereekerero k’okuyingira mu ggandaalo ly’ennaku enkulu omuli Christmas n’okumalako omwaka, bangi ku bazze batereka ensimbi mu bibiina eby’enjawulo buno bwe budde obw’okugabana ku kasimbi kaabwe.
Mu mbeera eyo, bammemba mu kibiina kya One Family Development Saccolibadde ssanyu jjereere gye bali abakulu abakulembera ekibiina kino bwe babayise ku kabaga akamalako omwaka ne babagabira n’ensimbi zaabwe ze baterese okuyita mu mwaka.
One Family Development Sacco esangibwa Kibuye mu Kampala ng’ekulemberwa omusumba Vincent Ssentoogo ne Kamiyati ng’ono ye muwanika.
Bammemba basabiddwa okufuba okukozesa obulungi ensimbi zino babeeko bye bazikolamu ate ebinaabayamba okuggyamu ensimbi ze banaatereka omwaka ogujja oba okwongera mu bbizinensi zaabwe wabula zonna baleme kuzissa ku mumwa kuzirya nga bwe zibaweereddwa nti olwo bajja kuba tebakolerera nkulaakulana.
Ekibina kino kiweza bammemba abali eyo mu makumi 50 era nga kyakamala emyaka esatu bukyanga kitandikibwawo basobodde okwekulaakulanya nga n’abamu beegulidde zi ppoloti z’ettaka nga balindiridde kuzimba oba okuziteekamu enkulaakulana endala.
Ye kkansala we Gganda mu munisipaali y’e Nansana, Abu Batuusa mu kwogerako eri bammemba bano abasabye okwejjamu engambo kubanga guno muze oguvaako obutabanguko obuviirako ebibiina nga kino okusasika.
Batuusa abakuutidde okwesigangana n’okukunganyanga sente zaabwe babeeko bye beguliramu ng’ekibiina okuli ettaka beesaliremu ppuloti kubanga omuntu ssekinnoomu kiyinza okumubeerera ekizibu okukungaanya ssente eza wamu n’agula ppoloti ey’obukadde 10 ng’ate ssinga baba bakwatidde wamu, kino kibeera kyangu nnyo.
Bano bagabidde bammemba ssente zaabwe ze bamaze nga batereka okumala omwaka mulamba era nga omuntu afunye ssente entono atandikidde mu kakadde kamu n’ekitundu.