Abavubi n’abasuubuzi ba mukene emirimu gyabwe egyaggwawo oluvannyuma lw’okuwera envuba ya munene amanyiddwa nga hariyaapu balaajanidde omulabirizi w’obulabirizi bw’e Mukono, Enos Kitto Kagodo ne bamusaba abatuusize eddoboozi lyabwe eri pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni abaddiremu.
Bano eddoboozi lyabwe baaliyisizza mu mukubiriza w’obusumba bw’e bizinga by’e Buvuma Milly Nampiina eyategeezezza omulabirizi Kagodo nti okuva gavumenti lwe yayimiriza envuba ya mukene amanyiddwa nga hariyaapu eyali eyimirizzaawo wmitwalo n’emitwalo gy’abavubi mu bizinga okuli eby’e Buvuma, Buikwe, Mukono, Kalangala ne disitulikiti endala eziri ku nnyanja, abantu bangi n’eky’okulya tebakyakifuna nga n’abaana baabwe eby’okusoma baabivaako.
Okutuusa obubaka bw’abavubi eri Omulabirizi Kagodo, Nampiina yasinzidde ku kkanisa ya St. Peters Walwanda esangibwa mu Buvuma ttawuni kkanso mu disitulikiti y’e Buvuma, omulabirizi bwe yabadde ku buweereza mu Buvuma obw’ennaku bbiri okuli Olw’okutaano ne ku Lwomukaaga.
“Taata omulabirizi tusaba gw’oba otujuna n’otutuusize eddoboozi lyaffe eri omukulembeze w’eggwanga Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni, atuyambe atuddiriremu tuddemu okuvuba mukene nga tukozesa akatimba akatuufu aka hariyaapu naye tufa! Okuvuba mukene gwe mulimu ogwali gutukwatiridde era okuva lwe gwaggalwawo ne batusindika mu kuvubisa enseno, enkola eyaggwako edda, bangi n’okusenguka baasenguka ne bawanganguka ne bagenda n’ensi,” bwe yategeezezza.
Ne ssentebe wa disitulikiti y’e Buvuma, Adrian Wasswa Ddungu naye yagasse eddoboozi ku lya Nampiina n’ategeeza omulabirizi nti emyalo egimu gyasigalira awo tekukyali bantu oluvannyuma lw’okuba nti omulimu gw’okuvuba mukene gwe gwali gugiyimirizaawo.
Ddungu yagambye nti kibi nnyo kuba okuvuba empuuta kwe basooka okubagobamu abasirikale abalwanyisa envuba emenya amateeka bwe baakola ebikwekweto ne bagenda nga bayonoona ebikozesebwa mu kuvuba ebyali bimenya amateeka.
“Olw’okuba okuvuba empuuta kwetaaga ssente nnyingi, abantu baffe abaabulijjo ze batalina, bwe baabagoba mu kuvuba mukene baabasindika kulya nfuufu. Abamu kw’abo baasenguka ne baddukira e Kenya kuba yo okuvuba munene nga bakozesa enkola ya hariyaapu tekwawerebwa,” bwe yannyonnyodde.
Ono agamba nti ne disitulikiti yakosebwa nnyo kuba okuvuba mukene gwe mulimu kwe yali eyimiridde nga mw’esolooza emisolo.
Ssentebe agamba nti omusolo gwe baali basolooza nga gusoba mu bukadde 300 omwaka okuva mu kuvuba, kati n’obukadde 100 tebasuubira kubuweza. Ddungu naye yawadde gavumenti amagezi okuleka abavubi bavube nga bakozesa enkola ya hariyaapu kuba y’engeri yokka eyinza okweyambisibwa mu kuvuba mukene mu bungi nga bwe gwali ng’okukozesa enseno tekisoboka.
Ye Rev. Brian Kiggundu, omusumba atwala obusumba bw’omu bizinga by’e Buvuma agamba nti olwa leero n’okuyimirizaawo ekkanisa nakyo kyafuuse kizibu kya maanyi kuba Abakulisitaayo kwe yali eyimiridde emirimu gyaggwawo n’abasinga obungi ne basenguka.
“Okuwagira emirimu gy’obuweereza kyafuuse kizibu kya maanyi nnyo. N’ekkanisa kati tusumba nkalu tezikyajjula nga bwe gwali edda sso nga n’abatono abajja ate amaaso bagatunuuliza ffe abasumba nga balowooza nti ffe tuyinza okuvaamu ekiyinza okubayamba gamba ng’okubasakira eky’okulya wadde nga naffe bwe tuli bwe tuli teri kya maanyi kye tuyinza kweyamba,” Rev. Kiggundu bwe yagambye.
Ng’ayanukula, Bp. Kagodo yalaze naye okunyolwa olwa gavumenti okusisimuka omulundi gumu n’ewera envuba eyali eyimirizzaawo abantu nga tebawaddeeyo wadde omukisa okubasomesa n’okubalaga eky’okukola ekirala ng’omulimu ogw’okuvuba mukene kwe baali bayimiridde guggwaddwawo.
Omulabirizi yasabye omukulembeze w’eggwanga, Yoweri Kaguta Museveni okutwala ekiseera awulirize abantu be abawangaalira mu bizinga aleme kubazimuula buzimuuzi nga bafa enjala n’eky’okulya tebakirina.
Bp. Kagodo yafundikidde obugenyi obw’ennaku ebbiri ze yamaze ng’alambula Abakulisitaayo n’abantu ba Katonda abasigadde abawangaalira mu bizinga by’e Buvuma ku Lwomukaaga.
Ono yalinnya n’ayolekera ebizinga by’e Buvuma ku Lwokutaano nga yakozesa ekidyeri ki MV Palm ekisaabaza abantu okuva ku mwalo gw’e Kiyindi okutuuka ku mwalo gw’e Kirongo mu ggombolola y’e Busamuzi mu disitulikiti y’e Buvuma.
Omulabirizi yatambula n’abantu ab’enjawulo omuli Maama Mulabirizi, Catherine Kagodo Kitto, omuwandiisi w’obulabirizi, Canon John Ssebudde, akulira eby’obulamu mu bulabirizi bw’e Mukono, Rev. Harriet Wamulima, akulira ekitongole ky’abavubuka mu bulabirizi, Sylus Mulwana, akulira ekibiina ky’abakyala abakulisitaayo, Robinah Lukwago, akulira ekibiina ky’abasajja abakulisitaayo, Herbert Ssenfuma, Ssaabadinkoni w’e Ngogwe, Stephen Kironde, n’abalala.
Mu bimu ku byakoleddwa omulabirizi Kagodo mwe muli okugatta abagole emigogo ebiri, okuteekako abaana emikono, okuwa abantu b’ebizinga obujjanjabi obw’obwereere, okulambula n’okusimba ebinazi n’ebirala bingi.
Emigogo gy’abagole ebiri omulabirizi yagigattidde mu kkanisa ya St. Peters ey’obusumba bw’ebizinga by’e Buvuma nga bano kuliko Caroline Nabwire eyagattiddwa ne Moses Kigaana ne Rebecca Nabirye nga yagattiddwa ne Charles Batte.
Omulabirizi era yataddeko n’abaana emikono abaasobye mu 50 nga wano yakubirizza abazadde mu bizinga okufaayo okuweera abaana.
Omukubiriza Nampiina era yalaze okunyolwa ng’agamba nti olw’obutaba na masomero ga kkanisa gamala, abazadde abaana abamu babasomeseza mu masomero ga Basiraamu oba ag’abalokole ate agasiga enjigiriza etali ya kikulisitaayo mu baana nga n’abamu bawalirizibwa okuva mu kkanisa ne badda mu ddiini ezo.
Kyokka ono yasiimye omusumba w’obusumba bw’ebizinga by’e Buvuma, Brian Kiggundu ng’agamba nti okuva lwe yatandika essomero lya St. Peters ku kitebe ky’obusumba, abaana bangi abalyettanidde ng’abazadde baaliraba n’essanyu lya maanyi n’asaba ekkanisa eyongere mu nteekateeka y’okutandika amasomero mu bizinga okuli n’ag’ebisulo amaanyi.
Bbo abantu bajjumbidde obujjanjabi obw’obwereere obwagabiddwa eddwaliro ly’ekkanisa ery’obulabirizi bw’e Mukono erya Mukono Church of Uganda Hospital.
Bano kuliko abakuuliddwa amannyo, abakebereddwa ebirwadde nga puleesa, ssukaali, akawuka akaleeta mukenenya, emisujja n’ebirala.
Ate omusumba atwala obusumba bw’ebizinga, Brian Kiggundu yasomye alipoota n’alaga ebikyasinze okumukaluubiriza omuli n’obutabeera na nnyumba musula baweereza, obutaba na ntambula n’ebirala.
Kigguddu wabula yasiimye omulabirizi olw’okugulira ekkanisa n’essomero akuuma akakwata eggulu kyokka nti kano okukagula eggulu lyasooka kukuba ssomero abaana 12 n’omusomesa ne balumirizibwa.
Omulabirizi Kagodo yawadde abazadde amagezi okufuba okusomesa abaana ng’agamba nti kikyamu okulowooza nti bbo ng’abantu abakulu olw’okuba tebaasoma, n’abaana baabwe nabo balina kubeera nga bbo.
Omusumba Kiggundu yakuliddemu Abakulisitaayo abalala ne basiima omulabirizi n’ebintu omuli ennyana y’ente, embuzi bbiri, enkoko n’ettooke.
Omulabirizi bano naye yabwadde bbayibuli ku buli mukulisitaayo eyabadde mu kkanisa n’ezaasigaddewo n’azitikka ababuulizi ne bazitwala mu makanisa ge basumba bazigabire abantu.
Ssentebe Ddungu yeeyamye nti nga disitulikiti, omwaka ogujja baakukola ekisoboka okulaba nga bayamba okuwa omulabirizi entambula enaamusobozesa okulambula ku bakulisitaayo abali mu bizinga ebiri mu mazzi waggulu omuli Namatale, Bwema, Bugaya n’ewalala.