Aba South Korea Baakuzimba Essengejjero Lya Kazambi e Wakiso lya Buwumbi 10

1 minute, 24 seconds Read

BYA TONNY EVANS NGABO

WAKISO | KYAGGWE TV |

Disitulikiti y’e Wakiso emalirizza enteekateeka z’okuzimba ekifo ewagenda okulongoosebwa kazambi e Namulonge mu divizoni y’e Busukuma mu munisipali y’e Nansana.

Okusinziira ku bakulembeze, essengejjero lya kazimbi lino lyakuwemmenta obuwumbi bw’ensimbi obusoba mu 10.

Minisitule y’eby’amazzi n’obutondebwensi mu ggwanga bw’ebadde mu nsisinkano n’abakulembeze ba disitulikiti y’e Wakiso ku kitebe kya disitulikiti nga bano bakulembedwamu Eng. Douglas Davis Kigundu, bategeezezza nga eddongoosezo lino bwe lyaweereddwayo eggwanga lya South Korea okuyambako gavumenti ya Uganda okusobola okukwata obulungi empitambi okumalawo obulabe obuva mu kumala gagimansamansa.

Eng. Kigundu yategeezezza nti eddongoosezo lino balirinamu essuubi okulaba nga liyamba okuwa Bannayuganda emirimu, nga bagenda kujjamu ebintu eby’omugaso ng’ebigimusa n’ebirala ng’ate babikolera ku nsimbi ntono ddala.

Bbo abakungu aba South Korea abagenda okwanganga eddimu lino ery’okuzimba essengejjezo lya kazambi lino bategeezezza nti bagenda kukulungula emyezi 18 bwe ddu. Bano bakulembeddwamu Eng. Jinwon Choi ng’era bakakasizza minisitule wamu ne disitulikiti y’e Wakiso ku lwa gavumenti ya Uganda ng’omulimu gwe bagenda okukola bwe gugenda okuyamba okuvaamu ebijimusa ebinaagabirwanga abantu ate bigimuse ebirime byabwe kiyambe ku makungula gaabwe okweyongera.

Eng. Isaac Galabuzi akulira eby’amazzi mu disitulikiti y’e Wakiso yagambye nti omulimu guno  gwali gwakutandika emyaka nga mukaaga emabega naye nga wabaddewo okusooka okunoonyereza okumala okulaba nga beewala embeera eyabadde mu kiteezi eyaviiriddeko abantu okufa.

Omumyuka wa ssentebe wa disitulikiti y’e Wakiso, Betinah Nantege, yasabye enteekateeka eno eno ereme kukolebwa gadibe ngalye abantu ba Wakiso bakirabe nga ekyagudde e Kiteezi nga kibefuulidde.

 

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!