Abakulisitaayo Bajjumbidde Okusaba Kwa Ssekukkulu e Mukono

0 minutes, 49 seconds Read

Abakulisitaayo bajjumbidde okusaba kwa ssekukkulu ku Lutikko y’Abatukuvu Firipo ne Ndereya e Mukono okukulembeddwa omulabirizi Enos Kitto Kagodo.

Bp. Kagodo ategeezezza nti kino kiseera kya kwebaza Katonda olw’embeera buli muntu gy’ayitamu omuli abali obulungi ate n’abatali bulungi.

Bwatyo, omulabirizi asabye Bannayuganda omuli n’abakulembeze omuli ne Bannabyabufuzi okufuba okukolerera emirembe ate n’okwesiga Katonda Yesu abeere nnamuziga mu bulamu bwabwe.

Ye Provost wa Lutikko eno, Canon Godfrey Ssengendo ategeezezza nti Ssekukkulu eno w’etuukidde ng’ebinyigiriza Bannayuganda bingi omuli obwavu obukudd’ejjembe, ekibba ttaka, endwadde n’ebirala n’agamba nti bino bireetedde n’abantu okuggwamu essuubi.

Canon Ssengendo asabye gavumenti okulaba ng’eyamba abantu abasookerwako okubeera n’obulamu obulungi okusobola okwejja mu nvuba mwe bawagamidde.

Ate akulira abakazi Abakulisitaayo mu bulabirizi bw’e Mukono, Robinah Lukwago awadde bamaama amagezi okutwala ekiseera kino okufa ennyo ku maka gaabwe, babafumbire ku kimere bagabule abaana ne babba baabwe.

Omuliro e Namirembe! Bp. Banja Agobye Rev. Mereewooma Abakulisitaayo ne Batabuka!

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!