Abasibe nga bagenda okulinnya bbaasi okuzzibwa e Luzira.

Abali ku Gw’okutta Omukungu wa Compassion Baddiziddwa mu Kkooti

1 minute, 45 seconds Read

Omulamuzi omusango gwabwe yagwongeddeyo okutuuka nga August 21, 2025 ng’oluvannyuma baddiziddwa mu kaduukulu ka kkooti gye baggyiddwa ne balinnya bbaasi y’amakomera n’ebazza e Luzira.

https://youtu.be/zhUk1oyqu6M

Abasajja abavunaanibwa emisango egy’enjawulo omuli ogw’okutta n’okubbisa eryanyi eyali omukungu w’ekitongole kya Compassion International Uganda ow’eby’ensimbi, Godfrey Wayengera bazzeemu okusimbibwa mu kkooti ne basomerwa emisango egy’enjawulo.

Bano basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi w’eddaala erisooka mu kkooti e Mukono, William Muwonge sso ng’ate omuwaabi wa gavumenti abadde mu mitambi gy’omusango guno ye Marvin Ninyesiga.

Kuliko; Asharaf Tumusiime (40) amanyiddwa nga Obadia, Fahad Kasolo (30), Mike Ssentaza (40) amanyiddwa nga Mwagamwaga, Sgt. Muhammad Mwesigye (50) yeeyita Jet Lee ng’ono yadduka mu ggye lya UPDF, Cpl. Mugabe Borban ng’ono wa Military Police e Kololo, Keeya Derrick, Dauda Kyangwe n’abalala abatannakwatibwa.

Abasibe nga batwalibwa mu kkooti okusomerwa emisango.

Kkooti yategeezeddwa nti bano, mu kiro ekyakeesa nga June 9, 2025 ku kyalo Nsuube A mu Mukono Central Divizoni, nga bakozesa emmundu enjigirire n’emiggo, baawamba Wanyengera ne Christine Najjabi oluvannyuma ne bakozesa emmundu yaabwe enjigirire ekika kya bbasitoola n’emiggo ne bakuba Wayengera ne bamutta.

Oluggya lwa kkooti lwabadde lujjuddemu abantu okuli n’ab’enganda wabula nga bano tebaafunye mukisa kugenda mu kkooti kuwulira bigenda mu maaso oluvannyuma lw’omulamuzi abasibe okubamutwalira mu woofiisi ye gye yawuliridde omusango guno, ng’ebisenge bya kkooti ebibiri byonna byabadde birimu emisango egiwulirirwamu.

Kino ab’oluganda lw’omugenzi Wayengera tebaakirabye bulungi ng’era mukyalawe, Miriam Wayengera yalumbye abasirikale b’amakomera n’abalaga obutali bumativu bwe ng’agamba nti baabadde balina okumanya ebigenda mu maaso mu kkooti.

Kadaga Downplays Speaker Among’s Bid as the Hunt for Support Over CEC Vice Chair Intensifies

Bano baavunaanibwa okuwamba Wayengera ne Najjabi, ne bababbako ebintu byabwe omwali essimu y’omugenzi ekika kya Sumsung SMA256E ebaririrwamu ensimbi sh1.3m, kkompyuta ekika kya Laptop Dell Latitude 5420 ebiririrwamu ensimbi obukadde busatu, sso nga ye Najjabi baamubbako essimu ekika kya Techno Spark 10 ebaririrwamu ensimbi emitwalo 80.

Omulamuzi omusango gwabwe yagwongeddeyo okutuuka nga August 21, 2025 ng’oluvannyuma baddiziddwa mu kaduukulu ka kkooti gye baggyiddwa ne balinnya bbaasi y’amakomera n’ebazza e Luzira.

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!