Omulambo gw'omusajja nga guggyibwa we yafiiridde.

Abatuuze Bagudde ku Mulambo Gw’ateeberezebwa Okuba owa Bodaboda Eyakubiddwa

1 minute, 1 second Read

Bano bateebereza nti ono yandiba nga yakubiddwa ababbi ba bodaboda ne bamulumya n’awunga ne babba ne pikipiki ye. 

Mukono Youth Elections Taken Over by Face-masked Goons Guarded by Police

Abatuuze ku kyalo Ttakajjunge ekisangibwa mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono baguddemu encukwe bwe bagudde ku mulambo gw’omusajja atamanyikiddwa mu kitundu nga yakubiddwa n’afa.

Bano bayise poliisi y’e Mukono eyeekebezze omulambo n’egusangako ebisago mu mugongo ne ku mutwe nga ne mu nsawo abadde alinamu ekisumuluzo kya pikipiki.

Ssentebe w’omuluka gw’e Namubiru, Robert Kisuyi annyonnyodde n’agamba nti omusajja ono yasoose kulabikako ggulo olw’eggulo ng’alabika mugonvu nnyo ng’asaba amazzi kyokka abatuuze ne batamufaako kyokka bagenze okukeera ku makya nga yafudde.

Abavuzi ba bodaboda nga beetegereza omulambo gw’omusajja.

Bano bateebereza nti ono yandiba nga yakubiddwa ababbi ba bodaboda ne bamulumya n’awunga ne babba ne pikipiki ye.

Kiswiriri asabye poliisi okubakolera ku by’okwerinda n’agamba nti mu kifo kino kirinaanye ekisenyi ky’e Nakitutuli abazigu gye babbira n’okutta abantu ng’era mu kifo kino gye baasuula n’omulambo gwa Maria Nagirinya.

Asabye poliisi okukola ku nsonga z’eby’okwerinda mu kifo kino bwe kiba kisoboka babateerewo kkamera.

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!