Abatuuze Ku Mwalo Gw’e Bugiri Mum Wakiso Balaajana Lwa Ddwaliro

0 minutes, 52 seconds Read

Abatuuze abawangaalira ku mwalo gw’e Bugiri mu ttawuni kkanso y’e Katabi mu disitulikiti y’e Wakiso bawanjagidde gavumenti ng’eyita mu minisitule y’eby’obulamu okubateerawo eddwaliro mu kitundu kino ekiwangaliramu abantu abakunukkiriza mu mutwalo omulamba.

Bano bagamba nti eddwaliro lya gavumenti mu kitundu kino lyakubataasa ku kutindigga olugendo olusukka mu kiro mmita omunaana nga banoonya obujjanjabi mu ddwaliro lya gavumenti Entebbe.

Abatuuze bino baabituuseeko mu nsisinkano gye baabaddemu n’abakakiiko k’eddembe ly’obuntu mu Wakiso ne bategeeza nga bwe bakaluubirizibwa okufuna obuweereza bwa gavumenti ekiviirako n’abamu ku bakyala eb’embuto okuzaalira awaka kwossa n’abandi okuffa nga beekatankira omudagala gw’ekinnansi.

Kasujja David nga ye ssentebe w’ekyalo Bugiri – Kiwulwe asabye gavumenti nti mu kiseera kino nga tennabawa ddwaliro wakiri yandibadde ebateerawo ambyulensi ey’obwereere okusobola okuddusa abalwadde naddala ababa abayi mu malwaliro, basobole okufuna obujjanjabi obw’amangu.

Wabula mu mbeera eno, ssentebe w’akakiiko k’eddembe ly’obuntu mu Wakiso Elly Kasirye agamba nti gavumenti ekyalemeddwa okugonjoola ensonga ezinyigiriza abantu abawangalira ku myalo n’ebizinga nga era mukadde kano akakiiko akalwanirira eddembe ly’obuntu kateekateeka olusiisira lw’eby’amateeka mu kitundu kino ng’ennaku z’omwezi 15 omwezi ogujja okwongera okuwuliriza ensonga ezinyigiriza abavubi.

 

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!