Ab’ekkomera e Kitalya Beekokkodde Omujjuzo Gw’abasibe

1 minute, 58 seconds Read

Bya Tony Evans Ngabo

Abatwala ekkomera lya gavumenti erya Kitalya Mini Max Prison beekokkodde omujjuzo gw’abasibe abali mu kkomera lino ogwongera okulinnya buli lukya.

Bano bagamba nti wadde ekkomera lino lirina okubeeramu abasibe 2000, we twogerera ng’abaliyo bakunukkiriza kuwera 3000, ekibaleka mu kusomooza okwamaanyi.

Abakungu b’akakiiko k’eddembe ly’obuntu ku kkomera e Kitalya.

Bino abatwala ekkomera ly’e Kitalya babitegeezezza bammemba b’akakiiko k’eddembe ly’obuntu aka disitulikiti y’e Wakiso abawubyeko olubu lw’ebigere mu kkomera lino.

Mu kwanukula, bammemba b’akakiiko Kano bawadde gavumenti amagezi nti wadde kiri bwe kiti, engeri entuufu ey’okwangangamu ekizibu kino si kuyita mu kuzimba makomera malala wabula bateekewo enkola ey’okwangangamu ekizibu ky’obumenyi bw’amateeka obweyongera buli lukedde sso nga n’abo abakwatibwa mu busango obutonotono bafune ebibonerezo ebitonotono ebibaweebwa okusinga okubamalira mu makomera.

Abakungu b’akakiiko k’eddembe ly’obuntu ku kkomera e Kitalya.

“Gavumenti kigikakatako okusalira amagezi ensonga eziviirako Bannauganda okwenyigira mu bumenyi bw’amateeka ne bafundikira nga baggwera mu mbuzi ekogga,” ssentebe w’akakiiko kano mu disitulikiti y’e Wakiso Elly Kasirye bw’agambye.

Kasirye asinziridde wano n’asaba be kikwatako mu gavumenti okusala amagezi okulaba ng’omuwendo gw’abasibe abali mu makomera gukendeera nga bayita mu makubo agayambako Bannayuganda naddala abavubuka obutenyigira mu buzzi bwa misango.

Abamu ku bakungu b’akakiiko k’eddembe ly’obuntu abaalambudde ekkomera ly’e Kitalya.

Ono agamba nti kino balina kukikola nga bayita mu kwongera amaanyi mu byenjigiriza by’eggwanga n’okuteekawo embeera nga buli munnayuganda asobola okusomesa omwana, okutondawo emirimu, okulwanyisa obutabanguko mu maka, okulwanyisa okukozesa ebiragalalagala, n’amakubo amalala mangi.

Kasirye era yasiimye omulimu ogukoleddwa ekitongole ky’amakomera mu ggwanga okusaawo obukulembeze obuvunanyizibwa ku ddembe ly’obuntu mu basibe wamu n’okwongera amaanyi mu byenjigiriza nga bawa abasibe obukugu mu nsonga z’eby’emikono ssaako abo abaagala okweyongerayo mu kusoma okw’omukibiina abaweebwa omukisa okusoma ne bakuguka.

“Emyaka mingi tuzze tulabe abasibe nga bayita ebigezo bya UNEB ku mitendera egy’enjawulo okuli PLE ku ba P.7, UCE ku ba S.4 ne UACE ku ba S.6. Tusiima, mwongereemu bwongezi maanyi,” bwe yakkaatirizza.

Mu kwogerako n’abamu ku bakulu abatwala ekkomera lino abataayagadde kwatuukirizibwa mannya baagambye nti basanga okusomoozebwa eri ebitongole bwe bakola emirimu omuli essiga eddamuzi ne poliisi olw’okumala gasindika bantu mu makomera nga tebakoze kunoonyereza kumala ekiviirako bannayunganda okuvundira mu makomera nga n’oluusi emisangi egibavunaanibwa tegiriimu nsa.

Ekkomera ly’e Kitalya lye limu ku makomera mu ggwanga agakola obutaweera okulaba ng’eddembe ly’obuntu eri abasibe ababeera asibiddwa terityoboolwa nga bwe kizzenga kirabikira mu makomera amalala .

 

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!