Nakabaale atutegeezezza nti okulonda kuno kugenda kubeera ku buli kyalo kw’ebyo 610 ebikola disitulikiti y’e Mukono ng’abantu bagenda kulonda abeesimbyewo abaagala okukwatira NRM bendera ku bifo by’ababaka ba palamenti mu kkonsituwensi ez’enjawulo.
Ng’ebula ssaawa busaawa okulonda kw’abanaakwata bendera z’ekibiina kya NRM ku bifo eby’enjawulo eby’ababaka ba palamenti kubeerewo olunaku olw’enkya ku Lwokuna nga July 17, 2025, abavuganya ab’enjawulo olwa leero baakusula nga batunula nga balowooza akalulu kano bwe kagenda okubeera ate na biki ebinaakavaamu.
Mu kwogeramu n’akuliddemu okulonda kwa NRM mu disitulikiti y’e Mukono, Stephen Nakabaale, ku kitebe ky’ekibiina kino ekisangibwa ku kyalo Butebe mu kibuga Mukono olweggulo lwa leero, ono atutegeezezza nti bbo basuze bulindaala mu buli kimu.

Nakabaale atutegeezezza nti okulonda kuno kugenda kubeera ku buli kyalo kw’ebyo 610 ebikola disitulikiti y’e Mukono ng’abantu bagenda kulonda abeesimbyewo abaagala okukwatira NRM bendera ku bifo by’ababaka ba palamenti mu kkonsituwensi ez’enjawulo.
Ono aggumizza nti eby’okwerinda babikozeeko n’alabula abaluubirira okukola effujjo nga bayingiza ekimanyiddwa ng’eggaali mu kulonda kuno nti tebakigeza kuba abanaakikola tebijja kubagendera bulungi.

Kabaka Declines to Pick 2 Vehicles Central Gov’t Awarded to Each Cultural Leader
Ategeezezza nti okulonda kugenda kubeera eri bammemba bokka abali mu kitabo kya NRM ki ‘Yellow Book’ ng’abataliimu tebamala budde na kugenda walonderwa.
Ku baakakasiddwa nga bavuganya ku bifo eby’enjawulo, Nakabaale agamba nti kuliko; abaagala okukwata bendera ku kifo ky’omubaka omukyala owa disitulikiti y’e Mukono nga bano kuliko;
Peace Kusasira Mubiru Kanyesigye, Doreen Nakanwagi, Margaret Nakavubu Bakubi ne Esther Kabugo Nagawa Mubende.

Ate abavuganya ku kkaadi ya Mukono Municipality kuliko; Daisy Nabatanzi Ssonko Sarah, Andrew Ssenyonga, Robert Mugabe ne Herbert Omodingi.
Ku kya kkaadi ya NRM e Nakifuma abakyagala kuliko; Robert Kafeero Ssekitoleko, John Jackson Ntwatwa ne Joseph Mugambe Kif’omusana.

Mukono North, abaagala kkaadi kuliko; Ronald Kibuule, Harriet Mutibwa ne Martha Kakayi. Ku kya Mukono South, Nakabaale ategeezezza nti waliyo omu yekka nga ye Kintu Tadeo nga yayitamu nga tavuganyiziddwa.

Nantaba-Karangwa Old Enmity Re-ignited as She Forces Her Way to Museveni
