Ng’alutongoza, Katikkiro asabye abantu bagende mu basawo abatendeke yadde nga tebalina kibaluma babakebere bamanye bwe bayimiridde ku bulamu bwabwe n’ategeeza nti “Asiika obulamu tassa mukono”.
Facts Emerge as Woman Who Abandoned Child at School Reappears with an Apology
Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga akunze Bannayuganda bulijjo okwemanyiizanga okugenda mu basawo babakebere embeera y’obulamu bwabwe buli luvannyuma lw’ebbanga eggere ne bwe watabaawo kibaluma.
Okukunga kuno, Katikkiro akukoledde mu ssaza lya Kabaka ery’e Kyaddondo bw’abadde atongoza olusiisira lw’eby’obulamu oluyindira mu kisaawe e Wankulukuku.

Ng’alutongoza, Katikkiro asabye abantu bagende mu basawo abatendeke yadde nga tebalina kibaluma babakebere bamanye bwe bayimiridde ku bulamu bwabwe n’ategeeza nti “Asiika obulamu tassa mukono”.
Ono era asomoozezza abantu ensangi zino abaagufuula omugano okuteekanga ssente mu bubaga obw’okwesanyusa naye bwe kituuka ku by’obulamu ne batandika okwekwasa nti tewali ssente.
Mukuumaddamula era akubirizza abantu ba Beene okulya emmere ezimba omubiri ate nga ya kigero, era beewale ebisiike, n’okulya emmere ennyingi.