Katikkiro n'Omulangira Jjunju nga basiibula Kabaka ku kisaawe ky'ennyonyi Entebbe.

Kabaka Agenze Bweru Wa Ggwanga Kusisinkana Basawo Be-Katikkiro

0 minutes, 43 seconds Read

Katikkiro Mayiga ng’ayita ku mikutu gi mugatta bantu yategeezeza nti Kabaka agenze atereera nga ye kennyini Omuteregga bw’azze ategeeza Obuganda mu bubaka bwe obw’enjawulo.

NUP Loses Five MPs to Other Political Parties, Mpuuga, Bwanika, Twaha Kagabo Inclusive

“Kabaka wa Buganda, Ronald Muwenda Mutebi II azzeeyo ebweu w’eggwanga okusisinkana abasawo be okwongera okumwekebejja okulaba engeri gy’abadde ajjanjabibwa abasawo be aba kuno,” Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga bwe yategeezezza.

Katikkiro Mayiga ng’ayita ku mikutu gi mugatta bantu yategeezeza nti Kabaka agenze atereera nga ye kennyini Omuteregga bw’azze ategeeza Obuganda mu bubaka bwe obw’enjawulo.

Kabaka ng’asiibula Katikkiro, ku ddyo ye Mulangira Jjunju.

Katikkiro asabye abantu ba Kabaka okumanya nti Obwakabaka busoosoowaza nnyo obulamu bwa Maasomoogi kubanga kye Katikkiro ky’Obwakabaka.

Kamalabyonna wa Buganda era yawerekedde Omutanda ku kisaawe ky’ennyonyi Entebbe n’Abakungu abalala.

Kabaka ne Katikkiro ku kisaawe ky’ennyonnyi Entebbe.
Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!