Wabula abamu ku bazze beenyigira obutereevu mu nteekateeka z’okusonda ensimbi bagamba nti bagenda kuwalaawala Hon. Kateregga bamukube mu mbuga z’amateeka poliisi oba kkooti bimuwalirize abaddize ssente zaabwe.
Thugs Disguise as NRM Supporters to Rob People in Kampala-21 Arrested
Richard Kateregga Mivule mu kiseera kino yabinnyise mu nsuwa ne yeetegula ekibabu oluvannyuma lw’okumala akabanga ng’asonda ensimbi okuva mu mikwano gye ng’ategeezezza nti agenda kwanjulwa kabiite we kyokka bwe lutuuse olunaku lwe yalaga n’abulawo.
Mivule abadde yategeeza nti waakwanjulwa nga June 28, 2025, lwe Lwomukaaga kyokka ono teyalabiseeko.
Kigambibwa nti ensimbi ng’obukadde 80 ze zisondeddwa wabula ng’abaasuze nga basuubira nti bagenda kugenda mu kwanjulwa kwa Kateregga kyabaweddeko bwe baatuuse ku Resort Hotel e Mukono we baabadde basuubira okusimbula nga tewali nteekateeka yonna nga n’omukulu Kateregga talabikako nga n’essimu takyazikwata.
Ate ku kyalo Katente ekisangibwa mu ggombolola y’e Nakisunga mu disitulikiti y’e Mukono ku buko bwa Kateregga gye bamuzaalira omukyala, nayo ab’amawulire batuseeyo nga n’eno bali mu gw’e Busami nneemagaza nga bagamba nti Omuko Hon. Kateregga ku ssaawa esembayo yakabatema nti omukolo tegukyabaddeyo era nti maama w’omugole naye bwatyo n’ayimiriza abantu.
Kateregga we twogerera ng’ali mu lwokaano lw’okuvuganya ku kifo ky’obubaka bwa palamenti obwa Mukono South ng’amaze akaseera ng’agamba nti ayagala kukwatira NRM bendera. Wabula era ng abwe gubadde mu nsonga z’okwanjula, ne ku by’okuvuganya ku kkaadi y’ekibiina nakyo omukulu abawagizi be baakanze kulinda kulaba oba anaaba omu ku bavuganya abagenda e Kyaddondo okuggyayo empapula ne gye buli eno erigendayo tannalisala.
Hope This Is Clean Money Free From Corruption!-Museveni Asks Speaker Among
Wabula abamu ku bazze beenyigira obutereevu mu nteekateeka z’okusonda ensimbi bagamba nti bagenda kuwalaawala Hon. Kateregga bamukube mu mbuga z’amateeka poliisi oba kkooti bimuwalirize abaddize ssente zaabwe.
Mu kwogerako n’omusasi w’amawulire ku lokomo lw’essimu, Kateregga ategeezezza nti kituufu olw’ebitaarengererwawo, omukolo tegwasobose kubeerayo wabula ng’enteekateeka zaakuddamu okukolebwa olunaku olulala abantu lubategeezebwe mu budde.