Bakiggala Bakoze Embaga ne Balumya Ababadde Babayisaamu Amaaso

5 minutes, 0 seconds Read

Waliwo bakiggala abakoze embaga emenye n’ebidaala e Kigunga mu kibuga ky’e Mukono. Embaga eno ebadde ku kkanisa ya Kiyunga SDA e Mukono ng’esombodde abantu ab’enjawulo ababadde batakikkiriza nti ekirema aboogera, abatoyogera bakiggala bakisobola.

Shariya Nalule agattiddwa ne mwana munne Ronald Kakinda ng’omukolo gw’okubagatta gubadde ku kkanisa ya Kigunga SDA esangibwa ku kyalo Kigunga mu divizoni y’e Goma mu munisipaali y’e Mukono.

Kakinda ne kabiitewe Shariya nga bamema.

Shariya nga kati afuuse mukyala Kakinda oluvannyuma lw’okugattibwa mu bufumbo obutukuvu muwala wa Hasifa Nakiruuta ne Meddie Galiwango abatuuze bw’e Nakirubi mu ggombolola y’e Kangulumira mu disitulikiti y’e Kayunga sso nga ye Kakinda mutabani wa Vincent Kayongo Musoke omutuuze w’e Kituuza mu Ntenjeru-Kisoga ttawuni kkanso mu disitulikiti y’e Mukono.

Okuva ku kkono, bazadde ba Shariya Galiwango ne Nakiruuta.

Bano bagattiddwa omusumba Christopher Sserunjogi ng’ogw’okuvvuunulira abagole mu lulimi lw’obubonero gukoleddwa Livingstone Kaweesi.

Ekkanisa ebadde ekubyeko abantu nga bano babadde mu lusiisira lw’enjiri olubadde luyindira mu kkanisa eno okuva ssabbiiti (Ku Lwomukaaga) ewedde.

Kakinda ng’asitudde kabiitewe Shariya.

Omugole omukazi obutafaananako nga bwe gutera okubeera bulijjo, mu kkanisa ayingiziddwa maamawe Hasifa Nakiruuta ng’ensonga lwaki taatawe Meddie Galiwango si y’abaddewo okutuukirza akalombolombo kano nze naawe.

Ng’abuulira, Pr. Sserunjogi asiimye abaagalana bano olw’okusalawo ne bagattibwa mu bufumbo obutukuvu ky’agambye nti kino kye bakoze kiremye bangi aboogera nga tebalina wadde obulemu bwonna ku mibiri.

Abagole n’emperekeze zaabwe mu kifaananyi.

Ategeezezza nti mu butamanya, Bannayuganda bangi abadda ku bantu olw’obutayogera, nga si musango gwabwe sso ng’era tebalina gwe baasobya Katonda okusalawo okubatonda nga teboogera kyokka nga babayita bakassiru ekitali kituufu. Ono awabudde nti kirungi abantu bano bayitibwe bakiggala kuba okubayita bakassiru si kituufu.

Abamu ku basumba okuva mu kkanisa ya Kigunga SDA nga bali ku mbaga ya ba Kakinda.

“Kubamu akafaananyi omusajja eyapakula omuwala n’amutwala ne bakola bye bakola nga ne mu bazadde be tebatuuse ne batandika kuzaala baana nga kati emyaka gyeyera abamu gigenda kuwera kkumi n’okusoba, kati oyo ne bano ani aba kassiru?” Musumba Sserunjogi bwe yeebuuzizza.

Ba Kakinda nga bakomawo ku mukolo gwe baasemberezza abagenyi baabwe.

Omukolo ogw’okugatta abagole gunyumidde abalabi nga bano omusumba Sserunjogi abayisizza mu mitendera gyonna nga bbo bagoberera muvvuunuzi waabwe era ekiseera eky’okukuba ebirayiro bwe kyatuuse, bbo ebyabwe baabikubye mu ngeri ya bubonero.

Ab’oludda lw’omugole omusajja ku mukolo.

Oluvannyuma bano baafulumye mu kkanisa wakati mu mizira ne boolekera mu maka g’akulira abafumbo mu kkanisa eno, Omukadde w’ekkanisa Ying. Josiah Sserunjogi agasangibwa ku kyalo ky’e kimu e Kigunga ng’eno gye beekubisirizza ebifaananyi.

Omugole omukazi nga bw’ayakaayakanye.

Basembezezza abagenyi baabwe mu lujja lw’ekkanisa eno nga n’omukolo guno nagwo gujjumbiddwa nnyo. Bano babadde ne kkwaya esanyusizza abagenyi baabwe okuva ku Mukono Central SDA Church nga bano bayimbye ennyimba ez’enjawulo.

Kkwaya ya Mukono Central SDA Church ng’esanyusa abagenyi ku mbaga ya ba Kakinda.

Mukono Central SDA kkwaya era y’eyingizza abagole nga bava mu bifaananyi wakati mu mizira n’enduulu nga bwe bakumba n’okuzina ng’oyinza okulowooza nti bawulira olwo ne balumya ab’ennugu nga tebaagala kumanya. Bakira bakola bino nga bwe bawuubira ku bagenyi baabwe wakati mu ssanyu ery’ekitalo.

Abazadde okuva ku ludda lw’omugole omusajja nga boogera eri abantu.

Abazadde okuva ku njuyi zombi baayogedde nga maama w’omugole, Hasfa Nakiruuta ategeezezza nti essanyu afunye lya nsusso okulaba nga mu baana b’alina, omwana atayogera buli omu gwe yali ayisaamu amaaso ate y’asoose okumuleetera embega mu ffamire.

Nakiruuta asabye abazadde okukomya okunyooma abaana abalina obulemu ku mibiri nga babatwala ng’abatalina mugaso ku nsi n’agamba nti naye ssinga Shariya teyamufaako n’amutwala n’asoma n’okusiba enviiri, ekkula ly’atuseeko teyaalirirabyeko.

Ate kitaawe w’omugole, Galiwango naye ategeezezza nti kyewuunyisa okulaba ng’ate Shariya atayogera y’asobodde okumutwalira omusajja ne bakola embaga ng’aboogera bagenda bugenzi mu bwamalaaya.

Ekifo ba Kakinda we basemberezza abagenyi baabwe.

Abazadde bano basiimye ekkanisa eno eya SDA olw’okusiima ne bakolera abaana baabwe omukolo guno ogw’ekitiibwa.

Atwala abafumbo mu kkanisa eno, Ying. Sserunjogi ne mukyalawe, Dr. Joyce Nalugya Sserunjogi basabye abantu okukoma okusosola abantu abaliko obulemu naddala bakiggala nga babalaba ng’abatalina makulu wadde omugaso ku nsi.

Abagole nga bali mu ssanyu.

Dr. Naluggya akuutidde Shariya okwewala okugendera ku bigambo by’abantu n’agamba nti alina kwekwata Katonda we amutuusizza ku kino buli kimu waakukimukolera.

“Togezanga okwenyigira mu bikolwa bya kalogo kalenzi otuuke okuliisa omusajja ebitaliika. Katonda akuleetedde omusajja ono era waakumukukuumira n’obufumbo abubawangaalize muzaale n’abaana,” bw’agambye.

Dr. Joyce ne Ying. Sserunjogi nga bawuubira ku bagole.

Abagole basaze kkeeki ne beeriisa wakati mu kulumya abateesi ng’omusajja kabiitewe emulezeeko ng’amuliisa kkeeki n’omukunywesa eky’okunywa.

Abagole nga basala kkeeki.

Bagabudde bazadde baabwe ne babawa n’ebirabo. Nga babavvuunulira, baayogedde mu bufunze nga basiima abo ababeereddewo ne basobola okukola omukolo guno ogw’ekitiibwa.

Kakinda ng’aleze kabiitewe ng’amunywesa ku ky’okunywa.
Kakinda ng’aleze ku kabiitewe.
Abagole nga basala omuziki.

Kkansala akiikirira omuluka gw’e Nyenje, Esther Mary Kayaga ayiimye abazadde ab’enjuyi zombi olw’okwagala abaana baabwe ne batabakotoggera wadde baazaalibwa nga tebawulira era nga tebayogera n’asaba n’abazadde abalala okubalabirako.

Esther Mary Kayaga, kkansala akiikirira omuluka gw’e Nyenje ng’ayogera.
Deborah mukano gw’abagole ng’ateekateeka kkeeki.

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!