Ono Nsikonnene tawena-bamuwooye n’abakazi musanvu!

1 minute, 58 seconds Read

Ekyalo Namasengere mu Nakifuma mu disitulikiti y’e Mukono kiwuniikiridde omusajja Ssaalongo Habib Nkokonnene bw’atandise okuyisa ebivvulu ng’ayolekera omuziki ne bakyalabe musanvu b’agenda okuwoowebwa nabo.

Omukolo guno guyindira ku kyalo Mugereka ekisangibwa mu ssaza ly’e Nakifuma, kinnya na mpindi n’ekyalo Namasengere kabwejumbira Nsikonnene kwe yazimba amaka ag’ebyafaayo mw’abeera ne bakyalabe omusanvu.

Abantu abawerera ddala beesombye okubeerawo ng’abajulizi okusobola okukakasa oba bulijjo bye bawulira ne bye babadde balaba ku mawulire ddala bituufu.

Nsikonnene yabuna emitimbagano bwe yagenda mu maka ga Julius Kironde omutuuze ku kyalo Katoogo ekisangibwa mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono okwanjula ab’oluganda babiri abaddiringanako nga bano be baaweza ennamba ya bakyalabe omusanvu.

Nsikonnene n’omu ku bakyala ng’awuubira ku bantu.

Ab’oluganda bano abaamize ensanafu ne bakkiriza okufumba mu ddya erimu ate nga lirimu ne baggya baabwe abalala bataano ye Sharifa Birungi ne muto we Aisha Kabbibu.

Mu kwanjula, Nsikonnene yatutte ebintu ebyawuniikirizza abatuuze nga buli kye yatutte yakitutte mu ddabo ddabo okuli pikipiki bbiri, ente bbiri, ebisambi by’ente bibiri, ssukaali, entebe lugalaamirizo eza taata bbiri, enkoko z’abako n’amakanvu ne kalonda omulala bw’atyo.

Omukolo gw’embaga ogugenda mu maaso olwa leero  ku Ssande gutandise na kuyisa bivvulu mu kabuga Mugereka okubadde aba bodaboda n’aba band ababadde bawerekeddwako emmotoka okuli amannya g’abakyala be bonna omusanvu b’akubye embaga, wakati mu bantu ababadde bakwatiridde Ku makubo okwelorera ku binene.

Ssaalongo Nsikonnene alumizza abagenze okusunga bw’akutte bakyalabe omu kw’omu nga bw’akumba nabo ng’abayingiza mu busenge gye babakoleddeko eby’obugole. Bino bibadde bigenda mu maaso ng’enduulu ez’oluleekereeke bwe zisaanikidde ekitundu.

Sharifa Birungi ne muto we Aisha Kabbibu lwe baayanjula kabiite waabwe.

Kabwejumbira ono ategeezezza nga bw’asazeewo okwawukana ku basajja abalala n’akuba bakyala be bonna embaga olw’empisa zaabwe ennungi, obugumiikiriza n’okwagala kwe bamulaze era nti bonna bakkiriza okubakuba embaga omulundi gumu.

Ono era agambye nti akamu Ku bukodyo bw’akozesezza okukuuma abalungi be bano mu ffaamu ye kwe kubawa bonna buli omu ky’ayagala mpozzi n’obutabalumya mu mukwano kuba ye mu kukekeza ennyago talina amuwunyamu.

Abamu ku bagole gye baabakoleddeko nga tebannagenda kubawoowa.
Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!