Ate ye Vivian Kalule okuva mu ggombolola y’e Nama yagambye nti bingi bye bafiiriddwa ng’ekibiina olw’entalo ezitaggwa munda mu kibiina, ekintu ky’agambye nti kiyuzizza buyuza mu kibiina, nti kati essuubi balirengedde mu Haji Ssemakula.

Bammemba b’ekibiina ekiri mu buyinza ekya NRM, abamu ku baakwatira ekibiina bendera mu kulonda okwa 2021 ku mitendera egy’enjawulo mu distulikiti y’e Mukono bassizza kimu nga nkuyege okuwagira amyuka ssentebe w’ekibiina mu kabbinkano ke balimu ne mukamaawe mu kulonda anakulembera ekibiina mu distulikiti.
Hajji Haruna Ssemakula yasalawo okuvuganya ne mukamaawe Hajji Twahir Ssebaggala mu kulonda ssentebe w’ekibiina owa disitulikiti.
Mu lukiiko lwe baatuuzizza ku Bredo Hotel mu kibuga Mukono ku Lwokutaano, banna NRM bano bakkiriziganyizza nti Hajji Ssemakula y’asingako okuba n’omulamwa ku nsonga z’okuyimusa ekibiina, era ne bakkiriziganya awatali kwesalamu, okumuwagira akole ebyo ebirabikako ate aleete n’ebirala ebimusuubirwamu naddala okugatta bannakibiina okuviira ddala wansi.
Bano baanenyezza obukulembeze bwa Hajji Ssebaggala obukulira ekibiina mu kiseera kino, olw’okuvaako okuwangulwanga entakera mu kulonda okwenjawulo, okuviira ddala waggulu ku Pulezidenti okutuukira ddala wansi, ne bagattako nti olw’obunafu buno, NRM terinaayo mubaka wa palamenti akiikirira Bannamukono ng’ebifo byonna abavuganya gavumenti baabikukumba.
Olutalo Lwa Hajji Ssemakula Okusiguukulula Mukamaawe Hajji Ssebaggala-Babiyingizzaamu Emmundu!
Mu kiwandiiko kyabwe, baagambye nti we waawo Ssentebe aliko alina ky’akoze okuzimba ekibiina nti naye ekiseera kituuse asegulire omuntu omulala ob’olyaawo alina by’amusinza, naye akwate enkasi.
Hajji Ssebaggala yaakakulembera NRM e Mukono kati emyaka 15 mu kisanja kino ekigenda okufundikirwa.
Baagambye nti mu bukulembeze obugenda okukyusibwa, bangi ku bo baali bafuuse nfuuzi ezitalina mwasirizi olw’obutaba n’abakumaakuma kuba bumu era ne bassa kimu nti kino ky’ekiseera bakyuse ku bukulembeze baleete omuntu ate alina enkizo olw’obusobozi bw’azze alaga okuva emabega.
John Bosco Wamala Ssaalongo eyawangulwa ku kifo ky’okukiikirira omuluka gw’e Nantabuulirirwa yagambye nti mu kisanja ekiwedde baali ba kukola na Haji Ssemakula nti naye olw’obuzibu obuteebereka, yalemesebwa okuyingira ofiisi, n’agattako nti omukisa gutuuse okumuyingiza basobole okuleeta essuula empya mu bukulembeze bwa NRM e Mukono.
Ate ye Vivian Kalule okuva mu ggombolola y’e Nama yagambye nti bingi bye bafiiriddwa ng’ekibiina olw’entalo ezitaggwa munda mu kibiina, ekintu ky’agambye nti kiyuzizza buyuza mu kibiina, nti kati essuubi balirengedde mu Haji Ssemakula.
Lyton Nazziwa nga mu kiseera kino anoonya kukulira akabondo k’abakyala yasiimye Haji Ssemakula olw’okuba n’omuwendo gw’agasse ku kibiina wadde nga tabadde na buyinza bujjuvu, n’alaga essuubi nti bwe banaamutuuza mu ntebe enkulu, NRM etuuse okutuuka ku lyengedde lye babadde bakonga obukonzi olusu.
Hajji Ssemakula yategeezezza nti bingi by’azze akolera ekibiina e Mukono wadde ng’abadde mumyuka bumyuka wa ssentebe wa kibiina.
Mukono yanokoddeyo okuvujjirira kkampeyini za Bannakibiina abasinga obungi mu kkampeyini ezaayita mu 2021, okugulira bassentebe ba ssentebe ba NRM ab’amagombolola gonna 18 ezikola disitulikiti y’e Mukono, pikipiki okubayamba ku ntambula nga bakola emirimu n’ebirala bingi.
Facts Emerge as Woman Who Abandoned Child at School Reappears with an Apology