Bannakibiina Kya NRM e Kireka Basabye Okulonda Kwa Ssentebe W’ekyalo Kuddibwemu

1 minute, 36 seconds Read

Haumba Moses ng’ono awanguddwa Muyanja Umar n’obululu 955 ku 446 abawagizi kye bagamba nti tekibadde kituufu era ne basaba okulonda bwe kiba kisoboka kuddibwemu.

Gun Wielding Claims Set in as Mukono NRM In-house Campaigns Get Bitter

BYA TONNY EVANS NGABO | KIREKA | KYAGGWE TV | Abamu ku bawagizi mu kibiina kya National Resistance Movement (NRM) ku kyalo Kireka D mu munisipaali y’e Kira mu disitulikiti y’e Wakiso basabye ssentebe w’akakiiko k’eby’okulonda mu kibiina, Dr Tanga Odoi okulangirira  okuddamu okulonda kwa ssentebe w’ekyalo kyabwe olw’emivuyo gye bagamba nti gibadde mingi nnyo.

Bano banokoddeyo obutagoberera mannya agali mu nkalala eziri mu ‘Yellow book’ kwosa n’okulwanagana mu bawagizi ebyefuze enteekateeja y’okulonda.

Haumba Moses ng’ono awanguddwa Muyanja Umar n’obululu 955 ku 446 abawagizi kye bagamba nti tekibadde kituufu era ne basaba okulonda bwe kiba kisoboka kuddibwemu.

Muyanja Umar awangudde akalulu kano asambazze ebyogerwa ab’enkambi gy’awangudde n’agamba nti akalulu kano tekabadde ka mazima, n’ategeeza nti gwe babadde bavuganya naye yeeyaguliridde abawagizi naye era ne bigaana okukkakkana ng’amukubye akalulu n’enkoona n’enywa.

Muyanja era agamba nti abatuuze b’e Kireka D bazzenga batulugunyizibwa ku ttaka nga yazzenga abayamba mu mbeera eno n’asaba ssentebe w’ekibiina kya NRM mu ggwanga, Gen. Yoweri Kaguta Museveni era omulembeze w’eggwanga Uganda okutuuka mu kifo kino abayambe okugonjoola ebizibu by’ettaka ebirudde nga bigulumbya abatuuze emitwe.

Justice Minister Norbert Mao Warns Judiciary From Trying Tortured Suspects

Ate yo mu kireku, akalulu kano kawanguddwa Abasi Mutaawe Kanzaali ng’ono amezze ssentebe abaddeko Akiza Dickson ku bululu 82 ku 76 n’ategeeza ng’obukulembeze bwa NRM obubaddeko bwe butabayambye mu bizibu enkuyanja bye bafumbekeddemu ng’abatuuze.

Mu ngeri y’emu Kananula Daniel eyegwanyiza okukwata bbendera ya NRM ku kifo ky’omubaka wa Kira Municipality agamba nti ebbugumu eribadde mu kalulu ka NRM mu Kira kabonero ak’enkukunala nti ekibiina kye kirina obuganzi mu bantu era alina essuubi nti NRM yaakuwangula ekifo ky’omubaka wa palamenti mu Kira mu kulonda kwa bonna omwaka ogujja.

 

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!