Ssebaggala era agamba nti ayagala aweebwe n’olukalala lw’abalonzi bonna naye yeekenneenye abagenda okulonda nga kino kirina kukolebwa ng’okulonda tekunnatandika.
Police Chief Nixon Agasirwe Arrested, Linked to Joan Kagezi’s Murder
Wadde ng’eby’okwerinda binywezeddwa ku kifo ewagenda okulondera aba NRM mu disitulikiti y’e Mukono, okuli abasirikale ba poliisi n’ab’eggye lya UPDF, abateekateeka okulonda bakyalemeddwa okutandika okulonda kuno kuno mu butongole.
Bano basoose kusibira bawagizi bweru w’essomero lya Mukono High School erisangibwa mu Kitete mu munisipaali y’e Mukono nga wadde bangi okuli n’abatalonda baabadde bazze, ab’eby’owerinda beezoobye nabo okubaleka ebweru ne bamaliriza nga babayizizzaamu ne ku w’embuya.
Mu kiseera kino, kirowoozebwa nti abantu bonna abalina okulonda baamaze dda okuyingira mu kisaawe ewagenda okubeera okulonda kyokka tewali nteekateeka ziraga nti okulonda kugenda kutandika mu bwangu.

Essaawa ezaateekebwawo akakiiko akakulira eby’okulonda kwa NRM ak’eggwanga lyonna akakulira Dr. Tanga Odoi ziri mukaaga kyokka w’osomera bino nga zimaze okuyita mu ssaawa omunaana naye okulonda abakuli bakyatuula bufoofofo.
Embiranye okusinga eri ku kifo kya ssentebe wa NRM owa disitulikiti y’e Mukono ekivuganyizibwako abadde ssentebe mu kifo kino emyaka 15 egiyise, Hajji Twahir Ssemakula ng’ono bugenda kumwefuka n’abadde omumyukawe, Hajji Haruna Ssemakula.
Mu ddakiika nga 30 agayise, Hajji Ssebaggala ataddeyo okwemulugunya ng’agamba nti munne bwe bavuganya, Hajji Ssemakula alina okuggya bakamanya munda mu kifo ewalonderwa ne ku ggeeti ng’akyo bwe kigaana, wakulangirira ekiddako.
Ssebaggala era agamba nti ayagala aweebwe n’olukalala lw’abalonzi bonna naye yeekenneenye abagenda okulonda nga kino kirina kukolebwa ng’okulonda tekunnatandika.
“Bakanyama baawambye ggeeti, be bakkiriza abayingira, nze sirina bukakafu oba abali mu kifo kino be balonzi abakkirizibwa mu mateeka,” bw’annyonnyodde.
Mu kiseera kino, abakulu mu NRM ssaako abakulembeze n’ab’eby’okwerinda batudde mu kafubo akalimu n’embologoma ebbiri ezivuganya ku kifo kya ssentebe okuli Hajji Ssemakula ne Hajji Ssebaggala okulaba butya bwe bayinza okufuna akalulu ak’emirembe.