Bannayuganda Balabuddwa Okwerinda Ekirwadde Kya MPOX mu Nnaku Enkulu

0 minutes, 51 seconds Read

Nga tusemberedde okutuuka ku mazaalibwa g’Omulokozi Yezu Kristo wamu n’ebikujjuko ebiggalawo omwaka, ab’eby’obulamu mu disitulikiti y’e Wakiso balabudde Bannayuganda nga bwe beetegekera ebikujjuko bino, okubeera obwelinde ku nsonga y’ekirwadde kya MPOX eky’eyongedde okuwanika amatanga.

Abasawo bagamba nti mu kiseera kino, abantu abakunukkiriza mu lukumi (1000) be baakakwatibwa ekirwadde kino mu Uganda yonna nga mu disitulikiti y’e Wakiso mu kadde kano eweza omuwendo gw’abalwadde 217.

ST. BALIKUDDEMBE SENIOR SECONDARY SCHOOL KISOGA (0772 523786)

Dr. Bonny Natukunda omusomesa w’eby’obulamu mu disitulikiti y’e Wakiso asinzidde mu musomo eri bannammawulire ku kitebe kya disitulikiti n’agamba nti ssinga Bannayuganda bagayaalirira ensonga z’ekirwadde kino, kyolekedde okwongera okuwanika amatanga si na kindi okutuusa eggwanga mu kaseera akazibu nga bwe gwali ku kirwadde kya COVID 19.

Dr Natukunda mu ngeri y’emu asabye Bannayuganda obutalimbibwalibwa n’abamu kubibungeesa nti ebirwadde bino bibalukawo mu kiseera nga tusemberedde akalulu.

Ate ye Dr Munyankuusi Richard nga naye musomesa wa bya bulamu mu Wakiso asabye abatuuze bonna obutakebeza maaso kirwadde kya MPOX wabula bafeeyo okugenda mu malwaliro nga bafunye obubonero bwe bateebereza okubeera ekirwadde kino.

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!