Akasattiro ku Disitulikiti: Omuwendo Gw’abalwadde ba MPOX Gulinnye, Baweze 8

1 minute, 8 seconds Read

Bya Tony Evans Ngabo

Wakiso | Kyaggwe TV | Disitulikiti y’e Wakiso eri mu kusattira olw’omuwendo gw’abalwadde ba Monkey Pox (MPOX) ogweyongera okulinnya nga kati gutuuse ku bantu munaana okuva ku bana ababaddewo. 

Okusinziira ku minisitule y’eby’obulamu, Wakiso y’e disitulikiti ekyasinze omuwendo gw’abalwadde ba MPOX mu Uganda yonna ng’eddirirwa Kampala erina abalwadde mukaaga egobererwa disitulikiti y’e Kasese.

Bw’abadde akulembeddemu ensisinkano ey’amangu ebaddewo ku kitebe kya disitulikiti, Dr Brian Odaga okuva mu minisitule y’eby’obulamu nga y’avunanyizibwa ku nsonga y’okulondoola ekirwadde kino  agamba nti bakwataganye n’ekitongole ky’eby’obulamu eky’ensi yonna (WHO) wamu n’ekitongole kya Uganda virus Resaerch Institute (UVRI) okudduukirira abantu abasangibwamu ekirwadde kino ekisuufu nnamulonda.

Dr. Odaga mu ngeri y’emu agambye nti eddwaliro ly’Entebbe Referral Hospital liteekeddwawo okuyambako ababeera bazuuliddwamu ekirwadde kino mu kiseera kino ng’abakugu bwe bongera okusala amagezi ku kigenda okuddako naddala ssinga embeera yeeyongera okusajjuka.

Akulira eby’obulamu mu disitulikiti y’e Wakiso, Dr Emmanuel Mukisa Muwonge agamba nti mu kiseera kino, ng’ekirwadde kino kitandise okwegiriisiza mu Wakiso, basanze okusoomoozebwa okw’amaanyi mu by’ensimbi okugula amafuta okutaambuza wamu n’okuloondoola abalina obulwadde buno bw’agamba nti bweyongedde okusaasaanira mu bantu mu bitundu eby’enjawulo.

Omubaka wa Pulezidenti (RDC) atwala disitulikiti y’e Wakiso, Justine Mbabazi akubirizza Bannawakiso ne Bannayuganda okutwalira awamu okugoberera okulambika okwatereddwawo abakgu mu kulwanyisa ekirwadde kya Mpox.

Abaakazuulibwamu obulwadde buno basangiddwa mu bitundu by’e Nansana, ku ddwaliro lya Wakiso Health Center IV, Kyengera Health Centre II, e Kira ne mu bitundu by’e Ndejje-Kanaaba.

 

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!