Ekibuuzo kiri kimu, kati okusalawo kuno kulekawa Bakaluba, NRM yagyabulira n’agenda mu NUP, ate nabo baabo bamunaabidde mu maaso, kiki ky’azzaako, amaaso ku lutimbe.
NUP Essaddaase Bakaluba, Kkaadi Baakugiwa Muyanja, Mukono South Maseruka Gwe Bawadde
Ng’asinziira ku lukungaana e Nakifuma, amyuka pulezidenti wa NUP mu Buganda Muhammad Muwanga Kivumbi akawangamudde bw’akyasanguzizza nti ng’ekibiina, baasazeewo John Muyanja Ssenyonga y’aba akwata kkaadi okuvuganya ku kifo kya ssentebe wa disitulikiti y’e Mukono.
Ekifo kino mu kiseera kino kirimu Rev. Dr. Peter Bakaluba Mukasa ng’ono ali ku kkaadi ya NUP. Tekinnategeerekeka oba Bakaluba yatwalayo okusaba kwe oba Nedda, wabula nga y’abadde alaga nti akyaliwo nnyo.
Okutuuka ku kusalawo kuno, kyavudde ku bakulu okukyusa Muyanja ne bamujja ku kifo kye yasaba eky’okuweebwa kkaadi ya NUP ku kifo ky’obubaka bwa palemnti obwa Mukono South, ng’eno basazeewo kkaadi eweebwe musaayi muto Robert Maseruka.
Ne Ssenyonga tabadde mubi, akkirizza okukwata kkaadi ya NUP avuganye ku ntebe ya disitulikiti y’e Mukono.
Ekibuuzo kiri kimu, kati okusalawo kuno kulekawa Bakaluba, NRM yagyabulira n’agenda mu NUP, ate nabo baabo bamunaabidde mu maaso, kiki ky’azzaako, amaaso ku lutimbe.
Kiki ekireetedde Bakaluba obuzibu wakati we ne bakamaabe aba NUP?
Bakaluba Mukasa wadde ng’ebbanga lyonna yali munna kibiina kya NRM ng’era yali alwanye ne ku ntalo z’eby’obufuzi n’omubaka wa palamenti owa munisipaali y’e Mukono, Betty Nambooze Bakireke, yalaga ng abwe yali akyuse n’ava mu NRM n’adda mu NUP era Nambooze n’amwanjula eri abakulu mu kibiina ewatali kwesisiggiriza.
Wabula oluvannyuma lw’okuwangula akalulu nga bali bassa kimu era ng’omu k’atta omulala kaasalira essanja, Bakaluba yatandika okukola emirimu nga talina gw’awuliriza.
Ssebo k’abeere Nambooze, nga takyayagala kumanya by’amugamba. Kino nno tekyayisa bulungi Nambooze kuba okumala ebbanga, ne bwe yali akyali mu DP, ng’e Mukono ye w’okuntikko, nga ky’asalawo abakulembeze abalala tebabuuza bagoberera bugoberezi.
Wabula Bakaluba kino yakigaana ng’era kyeyolekera ku nsonga y’akakiiko akagaba emirimu aka District Service Commission, bwe yeerema n’agaana okukkiriza eyali ssentebe w’akakiiko kano mu kisanji ekiyise, Stella Kiondo okubeera mmemba w’akakiiko ng’embeera eno yabagulumbya omutwe ne Minisitule n’egaana okukkiriza akakiiko okumala ebbanga kumpi lya myaka esatu miramba. Bakaluba yafunvumira ng’agamba nti Kiondo yali aliko abaali bamuvunaana nti we yabeerera ssentebe w’akakiiko kano yatundanga emirimu.
Wadde Nambooze yavaayo n’amusaba addirize ku bigere ku lw’obulungi bwa Bannamukono abaali bakama baabwe n’okutaasa ensimbi ezaali eyo mu buwumbi obukunukkiriza mu bubiri ku buli mwaka gwa byansimbi ezaddangayo mu kittavvu ky’eggwanga olwa Mukono obutabeera na kakiiko kagaba mirimu wabula ono yali afuuyira ndiga mulere, anti Bakaluba yeerema nga n’ensonga zaatuuka n’eri abakulu mu kibiina kya NUP nga bagamba okumala ebbanga nga disitulikiti terina kakiiko kano ng’ate eri mu mikono gyabwe ng’aba NUP, kyali kisiiga ekifaananyi ekibi eri ekibiina.
Bakaluba baamuyita ng’olwo gigenze mu myaka esatu ng’akakiiko karemye okuteekebwawo ng’era ebyava mu nsisinkano tebyali birungi.
Wabula yalwa ddaaki, ng’ensonga eyingiddemu n’abakulu abalala omuli Gen. Katumba Wamala, yakkakkana n’akkiriza Kiondo n’agenda ku kakiiko era ne batandika okukola emirimu mu August w’omwaka oguwedde.
Wabula ng’akakiiko tekannaweza na mwaka, wiiki nga ssatu eziyise, Bakaluba yavuddeyo n’ategeeza nga bwe yabadde ayimirizza akakiiko kano ng’agamba nti yabadde afunye okwemulugunya nti abakakulira ne bammamba babadde basusse okulya enguzi ku bantu abasaba emirimu.
Bino byaviiriddeko n’ab’akakiiko akalwanyisa enguzi aka State House Anti-Corruption Unit okusitukiramu okukkakkana nga ssentebe w’akakiiko, Ying. Godfrey Kibuuka Kisuule, sipiika wa disitulikiti era munna NUP, Betty Hope Nakasi nga bakwatiddwa n’abalala nga ne gye buli eno bakyanoonyerezebwako wadde nga baabata ku kakalu ka poliisi.
Bino nno nabyo byayongedde kusajjula kiwundu na kutuuka kunaabira Bakaluba mu maaso okulaba nga bamwetakkuluzaako, basobole okufuna abakulembeze abanassa ekimu n’abakulu mu kibiina.