Bp. Bbanja Asitukidde mu Gavumenti ku Bubbi Bw’ettaka Okufuuse Ekigenge Ekitawona

2 minutes, 16 seconds Read

BYA TONNY EVANS NGABO

KIRA | KYAGGWE TV | Omulabirizi w’obulabirizi bw’e Namirembe kitaffe mu Katonda Moses Banja mwenyamivu olw’emivuyo egigenda mu maaso mu Minisitule y’eby’ettaka mu ggwanga ng’agamba nti gino gye giviiriddeko ekibba ttaka okwongera okwegiriisa ng’ekigotta entula.

Bp. Banja agamba nti egimu ku mivuyo egikudde ejjembe kwe kufulumya ebyapa ebisoba mu kimu ku ttaka lye limu eky’ongedde enkaayana z’ettaka ezivuddemu n’okuttingana sso nga be kikwatako nabo tebakoze kimala kwanganga muze guno.

Omulabirizi w’e Namirembe ng’abuulira.

Herona Hospital Kisoga Conducts Free Eye Surgery Camp

Omuyimbi Mesach Ssemakula (ku kkono) omu ku baasomerako mu ssomero lino naye yabaddewo.

“Kyannaku okulaba ng’abakola emize gino bbo tebafaayo kw’ani gwe bakosa. Abantu baffe bangi abakaaba olw’embeera eno. Olaba n’ettaka ly’amakanisa nalyo balikolerako ebyapa eby’empewo, bbo bano beeyita ki abatalina gwe batya?” bwe yeebuuzizza.

Omulabirizi Banja bino yabituseeko bwe yabadde akulembeddemu okusaba kw’okujaguza emyaka 100 bukyanga essomero lya Kira Primary School litandikibwawo wamu n’okusonda ensimbi ez’okuzimba ekisulo ky’abayizi. Yategeezezza nti abantu bangi bagobaganyiziddwa ku ttaka lyabwe ne batuuka n’okubulwa we beegeka oluba naye nga be kikwatako mu gavumenti amatu bagataddemu envubo n’amaaso tebalaba bigenda mu maaso.

Omulabirizi era yasabye Bannayuganda okukolera awamu mu kusitula omutindo  gw’eby’enjigiriza mu bitundu byabwe. Ono era yawadde abazadde amagezi okufuba nga tebakoowa okuwa abaana baabwe eky’emisana nga bali ku masomero n’agamba nti buno buvunaanyizibwa bwabwe bwe batalina kubaako gwe babutikka mulala.

Abalala abaaseomerako mu ssomero lino nga bali mu yunifoomu.

William Bwambale akulira abakulu b’amassomero mu disitulikiti y’e Wakiso yasoomoozezza gavumenti okuvaayo okudduukirira amasomero ga nnansangwa agakyali mu mbeera etaggyayo kitiibwa kya byanjigiriza ng’eky’ennaku agasinga mu gano gali ku musingi gwa nzikiriza ez’enjawulo.

“Kikwasa ensonyi okusanga essomero erimaze emyaka egisoba mu 50 okuli n’agakunukkiriza mu myaka 100 n’okuyitawo naye nga bw’ogatuukamu obula kuyunguka maziga,” bwe yategeezezza.

Atte bbo abamu ku baaliko abayizi ku ssomero lino nga bakulembeddwamu Kayongo John Bosco bagamba nti baasazeewo okwekolamu omulimu okulaba ng’essomero lyabwe lituukana n’omutindo gw’ebibuga.

Omukulu w’essomero lino Agnes Nakimera Ssendagala yasiimye abaaliko abayizi mu ssomero lino ababayambyeko okusonda ensimbi ez’okuzimba ekisulo ky’abayizi.

Ensimbi obuwumbi butaano ze zeetaagibwa okuzimba ekisulo ky’essomero lino ng’ensimbi obukadde 60  ze zaasondeddwa nga ku zzo obukadde 20 ze zaafuniddwa mu buliwo.

Omukolo guno gwetabiddwako Namasole wa Buganda, Ssaabaganzi Emmanuel Ssekitoleko Ssalongo, Ow’ek: Israel Mayengo, omuyimbi Mesarch Ssemakula era nga bano baasomerako mu ssomero lino.

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!