Bannawakiso Bakyalidde Ssaabasumba Ssemogerere ne Bamusaba Emikisa

1 minute, 32 seconds Read

Abakulembeze abeegatira mu kibiina kya Tukolerewamu Community Development Agency ekisangibwa mu Busiro South nga bakulembeddwamu sipiika wa disitulikiti y’e Wakiso Nashif Najja baakyaliddeko Ssaabasumba wa Klezia atwala essaza ekkulu ery’e Kampala, Paul Ssemogerere mu makka ge e Lubaga ne bamukulisa okuyita mu nnaku z’Amazaalibwa ga Yezu n’okuyita mu mwaka 2024 nga mulamu.

Najja nga y’omu ku beegwanyiza okuvuganya ku kifo kya ssentebe wa disitulikiti y’e yatambudde n’abakulembeze okuli Joyce Nabatta Namuli ng’ono ayagala kuvuganya ku bubaka bwa Palamenti obwa munisipaali y’Entebbe, n’abalala baatwalidde Ssaabasumba ebintu okwabadde ebikozesebwa mu kusembera mu mmisa (emigaati n’evviini), ssukaali, butto n’ebirala.

Museveni Orders Police to Stop Giving Police Bonds to Criminals

Bano kitaffe mu Katonda baamwagalizza omwaka 2025 ogujjudde emirembe n’okugenda mu maaso kyokka ne bamusaba omukisa bye beegwanyiza mu kisaawe ky’eby’obufuzi biyitemu batuuke mu bifo bye baluubirira naddala nga twolekedde akalulu akabindabinda mu mwaka ogujja 2026.

Bano Ssaabasumba baamusanze mu maka ge e Lubaga era ne basooka banyumyamu naye n’oluvanyuma baamubuulidde nga bwe beetaga okwesimbawo okuwereza abantu ne bamubuulira lwaki bazze okwesimbawo era ekyazzeeko kwe kubateekako emikono n’abawa omukisa.

Baamusabye ng’omwana enzaalwa ey’ekitundu kyabwe abawagire mu ddimu eddene lye baliko okusitula embeera z’abantu mu kitundu kyabwe n’eggwanga lyonna okutwalira awamu.

Bano baamukwasizza ffayiro ne bamusaba abeere omuyima waabwe mu kibiina kyabwe ekya Tukolerewamu Community Development Agency.

Yabakuutidde okubeera obumu, okubeera ab’amazima ate abalumirirwa abalala sso nga tebalina kwefaako bokka nga bwe guli ku Bannabyabufuzi abasing obungi ensangi zino.

Najja yavuddeyo n’alaga obwetaavu bw’okwesimbawo mu kifo kya ssentebe wa disitulikiti y’e Wakiso oluvannyuma lw’abadde ssentebe wa disitulikiti, Dr. Matia Lwanga Bwanika okusiibula n’ategeeza nga bw’atagenda kuddamu kwesimbawo. Bwanika yategeezezza nti ye mu kulonda kwa 2026 yatanduludde ku bigere nga waakuvuganya ku bubaka bwa palamenti obwa Busiro South.

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!