Omulabirizi w’e Mukono, Enos Kitto Kagodo akoze enkyukakyuka mu basumba mu bulabirizi n’ajjuza ekifo ky’abadde Ssaabadinkoni w’e Ndeeba eyasuumuse n’afuuka omulabirizi w’e Luweero Bp. Wilson Kisekka.
Ven. David Ssekimpi nga y’abadde Ssaabadinkoni w’e Bbaale yatwaliddwa okubeera Ssaabadinkoni w’e Ndeeba ng’azze mu bigere bya Bp. Kisekka, ng’ono yatuukiddwa ng’omulabirizi w’e Luweero omwezi oguwedde ng’adda mu bigere by’omulabirizi kati omuwummuze, Eridard Kironde Nsubuga.
E Bbaale Bp. Kagodo asindiseeyo Ven. Mesach Lubega ng’ono ye yali Provost wa Lutikko ya St. Andrews mu bulabirizi bw’e Mityana eyalemererwa okukola n’omulabirizi waayo Bp. Dr. James Bukomeko.
Okusinziira ku bakulisitaayo b’e Mityana, Ven. Mesach bwe yalemagana ne Bp. Bukomeko, yasaba agende akolere mu bulabirizi obulala nga mu mbeera eya bulijjo, yalina okuweebwa okweteekateeka asiibule agende mirembe wabula kino si bwe kyali.
Kigambibwa nti Bp. Bukomeko yalagira Ven. Mesach okwamuka obulabirizi bw’e Mityana mu bbanga eritasukka nnaku nnya nga kino kyajja Abakulisitaayo mu Lutikko ya St. Andrews mu mbeera nga tebalaba lwaki omusumba wa Katonda omulabirizi atuuka okumugoba ng’agoba omubbi. Bano beekandagga ne bava mu kkanisa era okusaba ku Ssande eyo kumpi Lutikko yali nkalu ng’abakulisitaayo bali bweru.
Okuva e Mityana ku kikaliriro, Ven. Mesach abadde yeewogomye mu busumba bw’e Kitimbwa ng’omusumba waayo okutuusa lw’afuuliddwa Ssaabadinkoni w’e Bbaale mu disitulikiti y’e Kayunga.
Rev. Eliphaz Ssebuko Bwabye abadde Assistant Vicar wa St. John’s C/U e Kangulumira atwaliddwa e Nazigo mu busumba ng’omusumba.
Mu nkyukakyuka endala, Rev. Joshua Welishe atwaliddwa Kitatya, Rev. Fred Ntare atwaliddwa Kiyoola,
Rev. Moses Ssabo atwaliddwa Nakanyonyi, Rev. Esawu Zziwa atwaliddwa Kitimbwa, Rev. John Mitala atwaliddwa Kangulumira sso nga ye Rev. Moses Kafuluma atwaliddwa Kiwumu.
Omulabirizi Kagodo enkyukakyuka zino yazirangiridde bwe yabadde mu nsisinkano n’abasumba mu lukiiko olwatudde ku kitebe ky’obulabirizi bw’e Mukono mu Bp. Ssebaggala Synod Hall.
Mu kwogera kwe Kagodo abasumba yabasabye okwongera okutunuulira Katonda waabwe kubanga waali okubalagirira, okubazaamu amaanyi, okubajja mu masanganzira, mu kusomoozebwa kwonna ne mu bibuuzo ebingi kuba ye yekka abeerawo mu mbeera yonna.
Omulabirizi era abakuutidde okulowooza ennyo ku maka gaabwe ate n’okumanya nti Katonda abataddewo buteesi era abalinako obwannannyini nga abeesigisizza ebibye, kale nga tebalina kwelowooza bokka.
Ye Ssentebe w’Abaawule mu bulabirizi, Rev. Yosam Kintu Ssemukuye yagambye nti basobodde okulambula n’okusisinkana Abasumba mu busaabadinkoni bwonna, baafuna ekifo ewaali Tivoli Gardens nga kati kiyiitibwa Mukono Diocese Levi Gardens era nga kiddukanyizibwa basumba era basuubira okufuna emisomo egy’enjawulo omwaka guno, okufuna ‘study tour’, n’okukola akabaga akabayozaayoza n’okumalako omwaka ne bakyala baabwe ebitabaddeewo.
Ensisinkano eno yeetabiddwamu omuwandiisi w’obulabirizi Canon John Ssebudde, Canon Godfrey Ssengendo, Provost wa Lutikko y’Abatukuvu Firipo ne Ndereya e Mukono, ba Ssabadikoni bonna ssaako abasumba bangi mu bulabirizi bwe Mukono.