Buddu Ewangudde Kyaggwe mu Mpaka Z’Amasaza 2024

0 minutes, 49 seconds Read

Essaza lya Buddu liwangudde ery’e Kyaggwe mu mpaka z’Amasaza ga Buganda 2024. Omuzannyi Micheal Walaka y’ateebedde Buddu ggoolo emu yokka mu kitundu ekisooka, ng’eno gye bazibidde okumalako eddakiika 90.

Essaza ly’e Buddu lyakawangula ekikopo ky’Amasaza emirundi kati esatu ng’ogwasooka gwali gwa 2016, 2021 ne 2024. Ddyo essaza ly’e Kyaggwe guno gwe mulundi gwe lisookedde ddala okutuuka ku z’akamalirizo mu mpaka zino.

Omupiira guno ogujjumbiddwa ennyo olw’embiranye ebaddewo wakati w’abawagizi ba ttiimu zombi okuli Kyaggwe ne Buddu nga buli emu ebadde yeewera okuwangula ekikopo kino era gubadde gwa byafaayo, olw’Empologoma ya Buganda, Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II okusiima n’alabikako mu bantu abangi oluvannyuma lw’ebbanga eddene ly’amaze ng’embeera y’obulamu bwe si nnungi.

Omubaka wa Kabaka, Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa ennyo nga Bobi Wine naye takkiriza kutuula Magere bamunyumize bunyumiza ebyabadde e Namboole nga Bannabuddu bafutiza Bannakyagge, ono omupiira agwose buliro.

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!