Abatuuze okuva ku byalo eby’enjawulo okuli Kikubankima, Nsambwe, Kussatu n’ebirala mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono bakedde kwekuluumulula okweyiwa ku kyalo Kikubankima okudduukirira emiranga egy’okuttibwa kwa mutuuze munnaabwe. Attiddwa ye Eddie Kaboggoza ng’abadde muvuzi wa bodaboda ng’akolera ku siteegi y’e Nsanvu. Pikipiki y’omugenzi ekika kya UG Boss nnamba UFC 816T abamusse bagireseewo nga […]
Waliwo bakiggala abakoze embaga emenye n’ebidaala e Kigunga mu kibuga ky’e Mukono. Embaga eno ebadde ku kkanisa ya Kiyunga SDA e Mukono ng’esombodde abantu ab’enjawulo ababadde batakikkiriza nti ekirema aboogera, abatoyogera bakiggala bakisobola. Shariya Nalule agattiddwa ne mwana munne Ronald Kakinda ng’omukolo gw’okubagatta gubadde ku kkanisa ya Kigunga SDA esangibwa ku kyalo Kigunga mu divizoni […]
Eyali omubaka wa Mukono South mu palamenti ku kkaadi ya NRM era nga ye yagikwatira bendera mu kalulu akawedde n’awangulwa, Johnson Muyanja Ssenyonga eyayabulira ekibiina gye buvuddeko n’addukira mu NUP, ekya Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa ennyo nga Bobi Wine olwa leero ayanjuddwa ku kitebe ky’ekibiina mu butongole. Muyanja ng’awerekeddwako omubaka wa munisipaali y’e Mukono mu […]
Abatandisi b’amasomero g’obwannanyini mu disitulikiti okuli Mukono, Buikwe, Kayunga ne Buvuma basisinkanye abakulembeze b’ekibiina ekibagatta mu Uganda ekya National Private Educational Institutions Association Uganda okusala entotto ku butya bwe bayinza okwanganga ebizibu ebibasomooza okusobola okusigala mu mulimu. Mu bizibu bye banokoddeyo mulimu eky’emisolo egiyitiridde egibasabibwa ebitongole bya gavumenti eby’enjawulo okuli eky’emisolo ekya URA, ssaako gavumenti […]
Abantu abasoba mu 400 be baafunye obujjanjabi obw’obwereere mu ggombolola ly’e Seeta-Namuganga mu disitulikiti y’e Mukono nga bwabaweereddwa eddwaliro lya St. Francis Naggalama. Abalwadde okuva mu bitundu by’eggombolola lino eby’enjawulo baakungaanidde ku ssomero lya Namuganga Church of Uganda P/S nga bajjanjabiddwa ebirwadde eby’enjwulo omuli emisujja, amaaso, okukebera n’okukuula amannyo, ppuleesa, ssukaali, okukebera omusaayi n’ebirwadde ebirala […]
Omukazi agambibwa okuyiira munne asidi n’atwaliramu ne muwalawe ow’emyaka 12 kkooti gwe yali yakkiriza okweyimirirwa azzeemu n’asimbibwa mu kkooti okweyimirirwa kwe ne kusazibwamu. Prossy Awusi amanyiddwa ennyo nga Maama Quin y’asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi w’eddaala erisooka mu kkooti y’e Nakifuma Peter Bukina n’amusindika mu kkomera e Nakifuma. Awusi ogumulangibwa gwe gw’okuyiira abantu babiri asidi okuli […]
Abakulembeze b’abantu abaliko obulemu ku mitendera egy’enjawulo beegayiridde abalamuzi n’abakulembeze mu ssiga eddamuzi bulijjo okugololanga ettumba bakaggw’ensonyi abakabasanya abantu abaliko obulemu. Bano bagamba nti bamaddugaddenge bano baviiriddeko bannaabwe bangi okusiigibwa siriimu wamu n’okufunyisa embuto abatanneetuuka. Omumbejja Mazzi Deborah Nakayenga akiikirira abaliko obulemu ku lukiiko lwa disitulikiti y’e Wakiso asinzidde ku Kolping Hotel mu Kampala mu […]
Waliwo maama ne muwalawe ow’emyaka 12 baggyiddwa mu ddwaliro e Kayunga nga bavunda olw’ebisago ebyabatuusibwako omukazi obuggya gwe bwalinnya ku mutwe n’abayiira asidi ng’entabwe eva ku musajja. Prossy Awusi omutuuze ku kyalo Kateete ekisangibwa mu ggombolola y’e Kasawo mu disitulikiti y’e Mukono y’agambibwa okukkira Sylvia Achola gw’ateebereza okwagala bba Sunday Mayombwe n’amuyiira asidi ssaako muwalawe […]
Abakulembeze obutayambako be bakulembera kumanya mateeka wamu ne ssemateeka w’eggwanga okubeera nga ali mu lulimi Luzungu nga luno luggwira Bannayuganda abasinga obungi lwe batasobola kusoma wadde okutegeera ze zimu ku nsonga ezinokoddwayo ezivuddeko obumenyi bw’amateeka mu ggwanga okwongera okwegiriisa ng’ekigota entula. Wadde nga ne mu bamu ku bannakibuga Oluzungu lubagwa kkono, kitegeezeddwa nti ate bwe […]
Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga akunze abantu mu Buganda okunnyikiza empisa y’okwabya ennyimbe n’okugoberera obulombolombo obugendera ku mukolo ogwo. Kamalabyonna agamba nti okwabya olumbe mukolo muzzaŋŋanda era gwa ssanyu kubanga guyamba abantu okuddamu okusisinkana, okumanyagana n’okwezza obuggya oluvannyuma lw’okuviibwako omuntu waabwe. Mukuumaddamula era avumiridde eky’abantu obazze badibya empisa eno nga bagiyita eya sitaani, n’agamba […]
