Amatikkira ga Kabaka: Aba Herona Hospital Bataddewo Emyezi Etaano Egy’okulongoosa ku Bwereere Abalwadde B’amaaso

Ng’ebula ennaku mbale obwakabaka bwa Buganda butuuke ku lunaku olw’ebyafaayo olwa July 31, Obuganda kwe bujjuukirira amatikkira ga Kabaka wa Buganda, Ronald Muwenda Mutebi II, Abaganda, Obwakabaka n’ebitongole ebikkiririza mu Buganda biri mu keetereekerero naddala nga Nnyinimu ali ku Nnamulondo ya Bajjajjaabe alamula. Mu kkowe eryo, eddwaliro lya Herona Hospital erisangibwa mu ssaza lya Kabaka […]

Abasawo Ab’America Bawadde Abatuuze Obujjanjabi Obw’obwereere

BYA BRENDA NANZIRI | BUIKWE | KYAGGWE TV | Obulwadde bw’amaaso bwe bumu ku ndwadde ezitawanya bannayuganda nga n’abamu kibavirako okulemererwa okukola okuyimirizaawo ffamire zaabwe nabo bennyini okwebezaawo. Oluvannyuma lw’okutegeera ekizibu kino, abasawo abakugu bateekeddwateekeddwa mu lusiisira lw’eby’obulamu olutegekeddwa ekitongole kya “Youth Focus Africa Foundation” (YOFAFO) okuwa abantu mu muluka gw’e Bulyateete obujjanjabi. Omuluka guno […]

Naye Ddala Ani Akkiriza Abantu Okuzimba mu Ntobazzi? Omubaka Naluyima Bimusobedde!!!

BYA TONNY EVANS NGABO | Kaazi | KYAGGWE TV | Mu kiseera ng’abantu mu bitundu by’e Nansana bakyakaaba omuli n’abamu ne gye buli kati abatannafuna we beegeka luba oluvannyuma lw’ekitongole ekivunaanyizibwa ku butonde bw’ensi omuli n’entobazzi mu ggwanga ekya NEMA okuvaayo ne kibamenyera amayumba n’ebintu byonna ebyali mu lutobazzi lw’omu Lubigi mu disitulikiti y’e Wakiso, […]

Muyanja Sseyonga e Mukono Asuddewo NRM Addukidde mu NUP

Bwe tumukubidde essimu okumubuuza ku nsonga eno, Muyanja ategeezezza nti ensonga zaawedde dda okusosootolwa nti “kiwedde okumwa, embalabe z’ezisigadde!” era nti ssaawa yonna waakwanirizibwa e Kavule ku kitebe ky’ekibiina kya NUP. | MUKONO | KYAGGWE TV | Ng’akalulu ka 2026 kakyali mu kkoona, bannabyabufuzi ku mitendera egy’enjawulo bali mu kutambula sserebu nga banoonya butya bwe […]

Dr. Eron Lawrence owa Kyambogo University Eyasobya ku Muyizi Muzibe Azziddwa e Luzira

Eyali omumyuka w’amyuma cansala wa University y’e Kyambogo avunaanyizibwa ku by’ensimbi n’okuddukanya yunivasite, Dr. Eron Lawrence azzeemu okusimbibwa mu maaso g’akulira abalamuzi ba kkooti ento e Nakawa n’amusomera omusango gw’okukabassanya omuyizi muzibe ow’emyaka 16 nga yali asoma S.4. Dr. Eron atemera mu gy’obukulu 56 abadde mu maaso g’omulamuzi Christine Nantege. Kkooti ekubyeko n’ebooga abantu abalina […]

Bassentebe B’ebyalo Babanja Musaala – Mbu N’omutwalo Ogwa Buli Mwezi Gulemeddeyo!

BYA TONNY EVANS NGABO | BUSSI | KYAGGWE TV | Bassentebe b’ebyalo mu ggombolola y’e Bussi mu disitulikiti y’e Wakiso batabukidde gavumenti olw’okubakandaaliriza okubasasula ensimbi omutwalo mutwalo ogwa buli mwezi gw’ebasasula olw’obuweereza bwe bakola mu bitundu byabwe. Bano bagamba nti okumala omwaka mulamba, tebafuna wadde ekikumi ky’ensimbi nga kati y’ensonga lwaki basazeewo okusitula ku ddoboozi […]

Okusengula Ab’e Bukasa: Omukungu wa Gavumenti Alwanidde mu Lukiiko

BYA TONNY EVANS NGABO | BUKASA-KIRA | KYAGGWE TV | Abakungu okuva mu minisitule y’enguudo n’emirimu baasanze akaseera akazibu okumatiza abatuuze b’e Bukasa ekisangibwa mu munisipaali y’e Kira ku nsonga y’okubasengula nga tebalinze na kubaliyirira. Bano baabadde bagenze kubawa nsalessale wa ssabbiiti emu yokka nga bavudde mu kifo kino olwo basobole okuwa gavumenti ekyanya okutandika […]

Omubaka Naluyima Mwennyamivu Olw’abazadde Abatakyafa ku Baana Balenzi

BYA TONNY EVANS NGABO | NAALYA | KYAGGWE TV |  Omu ku babaka ba palamenti abatuula ku kakiiko akavunaanyizibwa ku nsonga z’abaana agamba nti ssinga tewabeerawo kikolebwa ku nsonga y’abaana abalenzi abatakyafiibwako ng’abazadde essira balitadde ku baana bawala, eggwanga lyolekedde okufuna omulembe gw’abaami abatalimu nsa. Ono ye mubaka omukyala owa disitulikiti y’e Wakiso Betty Ethel […]

Stirling Ewangudde Kkontulakiti Y’okukola 9.72km Ez’oluguudo e Mukono ku Buwumbi 43

Gavumenti etongozza enkola nnamutayiika mw’egenda okuyita okukendeeza ku kalippagano k’ebidduka akakosa abantu mu bitundu omuli Kampala n’emiriraano. Muno mulimu disitulikiti n’ekibuga ky’e Mukono, disitulikiti y’e Wakiso n’e munisipaali y’e Kira, Entebbe n’e Mpigi n’ebirala. Enteekateeka eno entongozeddwa Minisita omubeezi owa Kampala n’emiriraano, Kyofatogabye Kabuye ng’asinziira ku kitebe kya munisipaali y’e Mukono. Kyofatogabye agambye nti oluvannyuma […]

Ekiwayi Ky’Abakulu B’ebika Mu Buganda Abaagenze e Namibia Babagaanye Okulaba Kabaka!!!

Ekiwayi ky’Abakulu b’ebika mu Buganda abaawalaazizza empaka ne bagenda e Namibia okulaba embeera Kabaka gy’alimu kibabuseeko bwe babagaanye okumulaba. Bano baagenze beewera nti ka gwake, k’etonnye, teri kigenda kubaziyiza kulaba Kabaka era ne basuubiza nti baabadde baakukomawo e Uganda babuulire abantu ba Nnamunswa embeera gy’alimu, wabula bano bibakalidde ku matama bwe babagaanye wadde okumulengerako. Okuva […]

error: Content is protected !!