Omuwagizi W’essaza Ly’e Kyaggwe Omulala Afudde!

| MUKONO | KYAGGWE TV | Nga Bannakyaggwe bakyakungubagira abawagizi ba ttiimu y’omupiira ey’essaza ababiri abafiira mu kabenje akaagwa ku Ssande e Butambala, ate omu ku babadde ku bitanda nga bataawa afudde. Afudde ye Mulwana abasinga gwe babadde bamanyi nga Musiraamu ng’ono abadde avuga bodaboda ku siteegi ya Sombe mu kibuga Mukono wakati. Abawagizi abasooka […]

Obwakabaka  Bufulumizza Enteekateeka Y’amatikkira ga Kabaka Aga 31

Obwakabaka bwa Buganda bufulumizza enteekateeka y’okukuza amatikkira ga Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II ag’omulundi ogwa 31. Omumyuka asooka owa Katikkiro Oweek. Prof. Twaha Kaawaase Kigongo ayanjudde olukiiko olugenda okuteekateeka okujjukira Amatikkira ga Kabaka ag’omwaka guno nga 31/07/2024. Ategeezezza nti omulundi guno okujjukira Amatikkira we kutuukidde nga waliwo okusoomozebwa olw’obukosefu bwa Kabaka wabula waliwo […]

RDC w’e Buikwe Hawa Ndege Agobeddwa-Entabwe Evudde ku Mivuyo gya Ttaka

Gye buvuddeko, RDC Ndege yalya matereke ne Minisita omubeezi mu woofiisi y’omumyuka wa Pulezidenti, Diana Mutasingwa bwe yamusanga ng’akola obwa kalabaalaba ng’eno babbulooka bwe bakoona ennyumba y’abatuuze mu ffamire emu mu munisipaali y’e Njeru. Minisita atwala woofiisi ya Pulezidenti, Milly Babirye Babalanda agobye RDC w’e Buikwe, Hajjati Hawa Namugenyi Ndege. Ng’Abaganda bwe baagera nti ekibi […]

Omukazi Eyasalako bba Obusajja N’adduka Poliisi Emukutte

Poliisi yakutte omukazi Susan Namuganza agambibwa okusalako bba obusajja n’abukutulako n’amuleka ng’ataawa ye ne yeddukira. Moses Kawubanya, ye yasalibwako obusajja oluvannyuma lw’okufuna obutakkanya ne mukyalawe Namuganza. Mu kiseera kino, Namuganza poliisi yamugguddeko musango gw’akugezaako kutta omuntu n’ogw’obubbi. Okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu bitundu by’e Busoga, Micheal Kasadha, Namuganza yasangiddwa ku kyalo Buwaga mu ggombolola […]

Ekimotoka Ky’amagye Kiyingiridde Ekizimbe Abawerako ne Basimattuka Okufa

BYA TONNY EVANS NGABO |KAGOMA | KYAGGWE TV | Abantu abawerako basimattuse okufa, ekimotoka ky’amagye bwe kyalemeredde omugoba waakyo ne kiyingirira ekizimbe okuli bbizinensi ez’enjawulo. Akabenje kano kaaguddewo ku Lwokubiri mu kabuga k’e Kagoma ku luguudo olugenda e Bombo mu disitulikiti y’e Wakiso, okuliraana essundiro ly’amafuta erya Be Energy Petrol Station. Emmotoka y’eggye lya UPDF […]

NEMA be Yasenda mu Lubigi Balidde Matereke N’abakulembeze Baabwe Lwa Mmere

| KYAGGWE TV |NANSANA-GANDA | Abamu ku bantu abaamenyerwa amayumba gaabwe mu kikwekweto kya NEMA mu Lubigi batabuse n’abakulembeze baabwe ng’entabwe eva ku mmere bano gye babadde babatwalidde okubaduukirira mu mbeera gye balimu. Bano ababadde abakaawu ng’omususa baayambalidde abakulembeze baabwe nga bakulembeddwamu kkansala w’ekitundu kino Abu Batuusa awamu n’abakulembeze abalala ng’obuzibu bwavudde ku buyambi bw’emmere […]

Nja Kukomawo ku Butaka Mu Bbanga Eritali Ddene-Kabaka Ayogeddeko Eri Obuganda

Empologoma ya Buganda, Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II ayogeddeko eri Obuganda mu ddoboozi ery’omwanguka era eriggumidde. Beene ng’asinzidde Namibia gye yatwalibwa okuwummulako n’okujjanjabibwa agambye nti embeera y’obulamu bwe egenda etereera era asuubira okudda ku butaka mu bbanga eritali lya wala. Yeebazizza Obuganda olw’essaala zonna ezimuweerezebwa n’obutaggwamu ssuubi wakati mu kusomoozebwa okwamaanyi. #BugandaUpdates2024

Ssekiboobo Akungubagidde Abawagizi ba ttiimu Y’essaza Abaafudde nga Bava e Gomba ku Mupiira

BYA BRENDA NANZIRI | MUKONO | KYAGGWE TV | Omwami wa Kabaka atwala essaza ly’e Kyaggwe, Ssekiboobo Vincent Matovu akungubagidde abawagizi ba ttiimu y’omupiira ey’essaza abaafiiridde mu kabenje akaagudde nga bava okuwagira ttiimu y’essaza ku mupiira gwe yasambye ku Ssande n’essaza ly’e Gomba. Ssekiboobo ategeezezza nti abawagizi babiri be bakakasiddwa okuba nga bafiiridde mu kabenje […]

Kitalo! Abawagizi ba Ttiimi Y’essaza Kyaggwe Bafiiridde mu Kabenje Nga Bava e Gomba

| KYAGGWE TV | BUTAMBALA | Ekikangabwa kigudde mu bawagizi ba ttiimu y’essaza ly’e Kyaggwe bwe bagudde ku kabenje nga bava e Gomba okusamba omupiira gw’amasaza. Okusinziira ku Christopher Sseruyange, ow’amawulire wa ttiimu y’essaza ly’e Kyaggwe nga y’omu ku bali mu ddwaliro e Gombe abawagizi bano gye baddusiddwa oluvannyuma lw’okufuna akabenje, abawagizi abawerako ng’omuwendo gwabwe […]

error: Content is protected !!