Bannamukono baweddeyo okwaniriza Pulezidenti wa NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu abadde mu kutalaaga disitulikti y’e Mukono olunaku lwaleero. Bano Kyagulanyi abasiimye olw’obutamulekerera n’agamba nti kino kye bakoze wakati mu kulemesebwa poliisi ne bataggwamu maanyi kye kiruma Museveni n’okumuteeka ku bunkenke n’atuuka okusula ng’atunula olw’amaanyi g’abantu. Kyagulanyi ategeezezza nti wadde poliisi yagezezzaako okubatataaganya n’ekyusa ebifo mwe babadde […]
Pulinsipo w’ekibiina kya NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu amakanda agasimbye Mukono olwaleero okutalaaga ebifo eby’enjawulo nga bw’awuubira ku bannakibiina n’okubawa obubaka obw’enjawulo obw’enkyukakyuka. Kyagulanyi olunaku alutandikidde Nakasajja ku luguudo oluva e Kampala okuyita e Gayaza ppaka Kayunga gy’ayaniriziddwa bannakibiina mu bungi olwo n’ayolekera Kalagi gy’agguddewo woofiisi y’ekibiina eya kkonsituwensi ya Mukono North. Ng’ayogera n’ab’amwaulire ku kitebe […]
BYA TONNY EVANS NGABO Olunaku lwa Mmande nga May 27, 2024, ekitongole ekivunaanyizibwa ku buttoned bw’ensi ekya NEMA wamu n’ekitongole kya KCCA baalumaze mu Lubigi nga bamenya amayumba wamu n’okugobagana n’abantu be bagamba nti beesenza mu ntobazi mu kitundu kino. Ennyumba ezisoba mu 150 ze zimenyeddwa ne zisigala ku ttaka mu kaweefube NEMA g’eriko okulaba […]
Bannakyaggwe baguddemu ekikangabwa olweggulo lwa Mmande bwe baafunye amawulire g’okufa kwa munnabyanjigiriza eyawummula Matovu Kyagambiddwa. Kyaggwe TV ekitegeddeko nti Kyagambiddwa we bamutuusirizza mu ddwaliro lya Mukono General Hospital abasawo bategeezezza abamututteyo nti abadde yassizza dda ogw’enkomerero. Wabula abamututteyo tebakkaanyizza na bigambo bya basawo era bakkaanyizza ne bamwongerayo mu ddwaliro lya Mukono General Hospital erya gavumenti […]
Ensonga z’akakiiko akagaba emirimu aka disitulikiti y’e Mukono (District Service Commission (DSC) ) zirinnye enkandaggo, bakkansala bwe beekumyemu ogutaaka ne bagaana okuyisa bbajeti y’omwaka 2024/2025 okuleka ng’akakiiko kano kateekeddwawo ng’amateeka bwe galambika. Emyaka gisobye mw’esatu bukyanga kakiiko akakadde akagaba emirimu kaggwako kyokka kaweefube alonda akakiiko akapya mu bbanga lino lyonna azzenga agwa butaka. Disitulikiti efiiriddwa […]
Kkansala wa NUP akiikirira Nakifuma-Naggalama TC mu kkanso ya disitulikiti y’e Mukoni agudde ku kyokya amakya ga leero, omukubiriza wa kkanso Betty Hope Nakasi bw’abimusibidde ku nnyindo n’amulagira afulume ng’entabwe eva ku kutambuza kalebula gw’agambye nti taliiko mutwe na magulu. Nakasi asoose kutegeeza kkanso etude ku kitebe kya disitulikiti y’e Mukono nga kkansala Bernard Ssempaka […]
Wadde Minisita omubeezi ow’eby’ettaka yavaayo ne yeegaana eky’okuzza ku ttaka ab’ebibanja n’okubakumamu omuliro okwonoona ebintu by’ekkanisa n’eby’abantu abalala okuli ery’ekkanisa ya St. Luke Town Church Kirangira mu munisipaali y’e Mukono ne ku ttaka ly’omugagga Dick Israel Banoba ku byalo okuli Kirangira ne Lwanyonyi, abeeyita ab’ebibanja bakyagenda mu maaso n’okukola effujjo si ku kkanisa yokka wabula […]
Muwala wa ssentebe wa disitulikiti y’e Wakiso, Dr. Matia Lwanga Bwanika takyali wa busa, efunye mwana munne amulonze mu bangi. Ono amukubye empeta wakati mu Lutikko e Namirembe ne yeerayirira okwagala oyo omu obulamu bwe bwonna okutuuka okufa lwe kulibaawukanya. Jane Diana Namayanja ye yeerondedde mwana munne era kabiitewe Patrick Mawanda era bano kati bali […]
Omulabirizi w’e Namirembe, Moses Banja abaali obuweereza bwe butandise okukaawa, abalowooza okubeera abanene okusinga ye oba okusinga obulabirizi abasitukiddemu era bamutenda bukambwe. Wiiki ewedde, ono yagobye kkwaya ya Lutikko y’e Namirembe ebadde engundiivu n’asaba bammemba baayo bade ebbali n’abateekako n’olukiiko lubanoonyerezeeko. Omulabirizi Banja teyakomye okwo, era yasiguukuludde n’abamu ku baawule ababadde boogerwako ng’ab’amaanyi era abaazimba […]
Abaweereza mu kkanisa ku mitendera egy’enjawulo mu bulabirizi bw’e Mukono beekubidde enduulu eri omukulembeze w’eggwanga, Yoweri Kaguta Museveni ne bamusaba ayambe ensi akome ku Minisita omubeezi ow’eby’ettaka Sam Mayanja gwe bagamba nti asusse okulengezza bakulembeze banne nga kati asitukidde mu b’ekkanisa. Bano bagamba nti Minisita Mayanja n’ekolaye ey’emirimu etuuse okwongera okudibaga emisango gy’ettaka n’enkaayana kuba […]
