Ssentebe Ssendi ng'omusirikale amujja mu maaso ga Minisita Mayanja gwe yabadde ayagala okwambalira olw'okuvvoola Kabaka. Mu katono ye Minisita Mayanja.

Minisita Mayanja Alozezza ku Bukambwe Bw’abantu Lwa Kuvvoola Kabaka!

3 minutes, 56 seconds Read

Minisita omubeezi ow’eby’ettaka, Sam Mayanja yalozezza ku bukambwe bw’abantu e Mukono mu ssaza lya Kabaka ery’e Kyaggwe bwe yakutte akazindaalo n’amala ebbanga erisoba mu ssaawa ng’ali ku Kabaka ajolonga.

Minisita yategeezezza nti Kabaka talina ttaka mbu kkampuni ye eya Buganda Land Board nayo teri mu mateeka kukola ku ttaka ng’era ebigambibwa nti waliwo ettaka lya Kabaka mu disitulikiti ez’enjawulo bya ppa, bikyamu.

Ssentebe Ssendi ng’asuukira bw’awereekereza Minisita Mayanja ebigambo.

“Bino mbyogera ‘without fear or favour’, nga bwe nnabigamba abantu b’e Bugerere, ettaka lyonna lye bagamba nti lya Buganda Land Board, eryo ttaka lya disitulikiti. Kabaka talina ttaka, bw’aba awulira ng’ayagala ettaka aligule… bw’aba yalisikira okuva ku kitaawe, abeere nalyo, naye toddira public land, n’oliyita private land…” bwe yategeezezza ekyaggye abantu mu mbeera ne beekandagga ne bafuluma abalala ne batandika okumuwereekereza ebigambo.

Bano baakulembeddwamu ssentebe w’ekyalo Lweza ekisangibwa mu Mukono Central Division, Joachim Ssendi ng’agamba nti kyabadde kikyamu Minisita Mayanja okutandika okuvvoola Kabaka ku ttaka lya Buganda nga n’Abaganda batudde bawuliriza.

Ono yatandise okumuweereza ebisongovu ekyatanudde n’abantu abalala okumwegattako olwo ne gubula asala. Abasirikale baalabye embeera eyongera okuva mu mbeera ng’abeekalakaasa bwe baagala okulumba Minisita nga n’eby’okweogera ebivuddeko atunuulira beekalakaasa ne babalumba ne babawooyawoonya nga bwe babafulumya.

Meeya w’ekibuga ky’e Mukono, Erisa Mukasa Nkoyoyo yagezezzaako okukkakkanya Ssendi naye n’amugamba nti kizira n’okutta kitta okutunula obutunuzi nga Minisita ali ku Kabaka avvoola.

Ssentebe Ssendi ng’asuukira bw’awereekereza Minisita Mayanja ebigambo.

Bano baafulumye ebweru ne batandika okugenda mu maaso nga baweereza ebigambo. Baalabye Ssaababendobendo, Omukungu Wilson Mukiibi Muzzanganda ye tafulumye ne bazooka bamussa akasiiso, bwe yaweereddwa akazindaalo okubaako by’abuuza ne bamuwereekereza ebigambo nga bagamba nti…

“Muzzanganda tukulaba, oliddemu Kabaka olukwe…” wabula Muzzanganda naye yabaanukudde n’ategeeza nti ebigambo Minisita Mayanja bye yabadde ayogedde ye yabadde talina kumwanukula, nti aliko abanaamwanukula.

“Bannange nze mundeke nange nnina ennaku yange eyandeese, ebyapa byange biri mw’ebyo Minisita by’ayogerako ebigenda okusazibwamu, ate nze mmaze nabyo emyaka egisoba mu 20, kyokka waliwo abaakubisa ebyapa ku ttaka lye limu era baalyewolerako obuwumbi buna n’okusoba…” bwe yannyonnyodde.

Wabula mu kugezaako okutaasa Muzzanganda, omubaka wa pulezidenti atwala disitulikiti y’e Mukono, Hajjati Fatuma Ndisaba Nabitaka yategeezezza abaabadde bamusimbyeko olukongoolo nti bamuleke kuba alina ensonga eyabadde emututte ng’oba oly’awo yanjawulo ku yabadde ebatutte.

Omugagga Muzzanganda ku kkono ng’atudde mu lukiiko ng’addiriddwa ssentebe wa Mukono Central Divizoni, Robert Peter Kabanda.

Minisita era yategeezezza nti ekikolebwa mu Buganda kikyamu Kabaka okuteekawo Katikkiro, abaami ab’amasaza, ab’emiruka n’abatongole n’agamba nti ekyo kikyamu, gavumenti teyinza ate kubeeramu gavumenti ndala.

Bano baabadde ku woofiisi z’eby’ettaka e Mukono nga Minisita Mayanja asisinkanye abantu ab’enjawulo abakwatibwako ebyapa 550 ebyayisibwa mu mawulire nga byolekedde okusazibwamu olw’okubeera mu bukyamu.
Doreen Tumushabe nga y’atwala woofisi eno e Mukono yategeezezza nti baayita abantu abali ku byapa bino bannyonnyole n’okulaga obukakafu ku byapa byabwe ng’ebyo eby’empewo bye bijja okusasibwamu oluvannyuma lw’okukola okunoonyereza.

Ye RDC Ndisaba naye yategeezezza nti emirundi mingi bbo nga ba RDC bazze balumbibwa abantu ab’enjawulo n’abamu ne babaloopa nga bagamba nti tebabayambye ng’ettaka lyabwe libbibwa.

Businessmen in Panic as Gov’t Earmarks 500 Fake Land Titles to Be Cancelled

Ndisaba yanokoddeyo omulabirizi w’e Mukono, Enos Kitto Kagodo ne gwe yaddira mu bigere, James William Ssebaggala nti bazze bakyogera lunye nga woofiisi ye bw’atabayambye kugoba bantu beesenza ku ttaka ly’ekkanisa.

“Kituufu, bw’ogenda e Nakanyonyi twakola okunoonyereza ng’eriyo abaami ba Kabaka abaaguza abantu ku ttaka ly’ekkanisa nga babagamba nti lya Buganda Land Board (BLB) ng’oluvannyuma lw’okufuna abapunta twakizuula nti ettaka lino si lya BLB wabula lya kkanisa. Waliwo abantu abali nga mu 430 abaalyesenzaako ng’ab’Abaami ba Kabaka be baabasenza ne baweebwa n’ebbaluwa ezibakakasa. Kati ekkanisa eyagala nze nsituke ngende ngobe abantu abo ku ttaka lyayo oluusi ekitali kyangu…” bwe yannyonnyodde.

RDC w’e Mukono, Fatuma Ndisaba Nabitaka.

RDC Ndisaba yagasseeko nti baakuba olukiiko omwalimu ne ssenkulu wa BLB naye n’akkiriza nti ddala ettaka eryo si lya kkanisa era nti ye tawanga ku baami ba Kabaka lukusa kusenza bantu ku ttaka lya kkanisa.

“Bwe twamugamba okuddira BLB eddize ekkanisa ettaka eriweza basajja ba Kabaka lye baasenzaako abantu mu kitundu ebirala, n’agaana ng’agamba nti basajja ba Kabaka be balina okuvunaanizibwa olw’omusango ogwo. Awo we twakoma na buli kati,” bwe yannyonnyodde.

Bbo abagagga ab’enjawulo baalaze okutya olw’ebyapa by’ettaka lyabwe ebyolekedde okugenda mu nteekateeka ya Minisitule ey’okusazaamu ebyapa.

Look For Jobs Elsewhere, Gov’t Cannot Employ Everyone – Museveni

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!