Munnakyaddondwa yanywedde akendo mu Bannalulungi okuva mu masaza ag’enjawulo mu mpaka ez’akamalirizo ezaabadde ku Hotel Africana ku Lwokutaano. Namale Kisha Ruth okuva mu ssaza lya Kabaka ery’e Kyaddondo ye yasitukidde mu kapyata w’emmotoka oluvannyuma lw’okuwangula empaka za Nnalulungi w’Ebyobulambuzi mu Buganda 2024. Namale eyeddira ekkobe yaddiriddwa Zalwango Miriam okuva mu ssaza ly’e Buddu ate Bisoboka […]
Maama wa Buganda, Nnaabagereka Sylvia Nagginda yagenyiwadde dda mu Texas ekya America gye yagenze okuggulawo Ekisakaate. Nnaabagereka yatuukidde ku kisaawe kya DFW e Texas nga yayaniriziddwa Dr. Frank Ssentamu n’ abakungu abalala. Ekisakaate y’emu ku nteekateeka Nnaabagereka ng’ayita mu woofiisi ye gye yatandikawo okubuulirira n’okubagula abaana ab’obuwala n’abalenzi ku nnono n’obuwangwa bwa Buganda, empisa n’okukola […]
Ebyewuunyisa nga bwe bitaggwa mu nsi, omwana Joel Mwanja Praise ow’emyaka 12 gyokka azitowa kkiro 172. Wadde bazadde be tebaasooka kutegeera buzibu mu bulamu bwe okuyimbulukuka mu ngeri etategeerekeka, bano oluvannyuma baakizuula nti buno bulwadde era bagamba embeera gy’ayitamu si nnungi. Fredrick Mawanda kkooki ayamba ku Mwanja okukola dduyiro agamba nti mu kiseera kino waliwo […]
Buganda Kingdom has unveiled an online platform to enhance tourism within the kingdom. The web portal, visitbuganda.com, serves as an online marketplace where all tourism-related services can be accessed. It also showcases the various tourism attractions that Buganda has to offer to the world. The portal was developed through a partnership with the private technology […]
Oluvannyuma lw’Abaganda ab’enjawulo okuvaayo ne batandika okwemulugunyiza abakulu mu nsi y’e Namibia nga bagamba nga bwe bateebereza okuba nga Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II ali mu busibe e Namibia, gavumenti yaayo evuddeyo n’etangaaza. Gavumenti y’e Namibia okuyita mu Ambasadda Martin Andjaba mu kiwandiiko kye yawandiise nga May 24, 2024, ng’adda mu kwebuuza oba […]
Oluvannyuma lw’okufulumya eggulire ely’okubulawo kw’abadde akulira abakuumi ba Kabaka, munamagye Capt. Edward Ssempijja, Olupapula lwa Bukedde lwongedde okuzuula bwiino akwata ku nsonga eno. Bukedde olwaleero olw’okutaano nga May 17, 2024 awandiise n’alaga nga Capt. Ssempijja bwe yalinnya ennyonyi nga mu kiseera kino ali Canada gy’ali mu kugoba ku mpapula ezimubeeza mu nsi eyo nga taliiko […]
Embeera ya bunkenke ku kitebe ekikulu eky’Obwakabaka bwa Buganda e Mmengo! Akasattiro kano kazzeewo oluvannyuma lw’okukizuula nti munnamagye Capt. Edward Ssempijja nnamba RO/13048, abadde akulira eby’okwerinda bya Kabaka yasuulawo dda omuli n’adduka nga ne bakamaabe tebamanyi. Bino oluvannyuma lw’okubeerawo, omwogezi w’amagye ga UPDF, Brig. Gen. Felix Kulayigye ategeezezza nti Capt. Ssempijja nabo tebamnyi mayitire ge […]
Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga yatongozza bboodi y’eby’obulambuzi n’ennono ey’Obwakabaka bwa Buganda. Bboodi eno ekulemberwa Omuk. Benon Ntambi ng’ono amyukibwa Ssuuna Luutu. Bammemba abalala kuliko; Omuk Farouk Busuulwa, Claire Mugabi, Kaweesi Daniel, Kitenda John, Edirisa Luwangula, Jimmy Kigozi, Claire MugabiNamuyimbwa Allen, Ssebuggwawo Marvin ne Justine Naluzze Ssembajjwe. Katikkiro yategeezezza; “Ensi nnyingi ezifuna ensimbi nga […]
Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga ategeezezza Obuganda nti Kabaka wa Buganda, Ronald Muwenda Mutebi II ali bweru ggwanga gye yagenda okufuna obujjanjabi. Katikkiro ategeezezza nti Nga March 21, 2024, Kabaka yagenda ebweru w’eggwanga okufuna obujjanjabi wabula ng’embeera y’obulamu bwe tennamusobozesa kukomawo kuba abasawo be bakyetaaga okumwetegereza engeri omubiri gye gutambuliramu ku bujjanjabi obumuweebwa. Bino […]
BYA BRENDA NANZIRI Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga alambudde ebitongole by’Obwakabaka ebikakkalabiza emirimu gyabyo ku kizimbe kya Muganzirwazza e Katwe mu kibuga Kabaka eky’e Kampala. Mu bitongole Katikkiro by’alambudde kuliko, Weerinde Insurance Brokerage Services Ltd, K2 Telecom, Namulondo Investment Ltd, ne Mmwanyi Terimba Ltd. Okulambula kuno kugendereddwamu okumanya abakozi abaddukanya emirimu gy’ebitongole bino, n’okwongera […]