Emboozi ya Ssaalongo John, Eyali Omusomi W’ebirango ku Leediyo Uganda ne CBS

Olunaku lwa leero nga October 21, 2024, eggwanga lyaguddemu encukwe oluvannyuma lw’okufuna amawulire g’okufa kw’eyali omusomi w’ebirango kayingo, Ssaalongo John Ssekandi Katalikabbe, ng’ono ebirango yabisomera ku Leediyo Uganda, CBS ne Super FM. Ssaalongo John yazaalibwa June 24, 1934, nga mwana nzaalwa y’e Nabuti mu kibuga Mukono. Ono mutabani wa Yosam Ssettubakkadde ne Miriam Nansubuga ng’era […]

Kitalo! Eyali Omusomi W’ebirango ku CBS Ssaalongo John Afudde!!!

Amawulire ga nnaku oluvannyuma lw’eyaliko omukozi ku Leediyo y’Obwakabaka CBS mu myaka gy’e 90, Ssaalongo John Ssekandi okuva mu bulamu bw’ensi eno. Ssaalongo John ng’abasinga bwe babadde bamumanyi yayatiikirira nnyo olw’engeri gye yasomangamu ebirango ku CBS. Ono amaze akabanga ng’olumbe lumubala embiriizi nga Katonda amujjuludde olwaleero. Ssaalongo John mutuuze w’e Mukono e Nabuti n’e Bunankanda […]

Buganda Kingdom Justifies the Little Sisters’ Yearning for Mother Kevin’s Canonisation

The second deputy Katikkiro of Buganda, Robert Wagwa Nsibirwa has expressed support for the burning desire by the Little Sisters of St. Francis of Assisi (LSOSF) to have their foundress, Mother Kevin Mary Kearney beatified and canonized as a saint, arguing that Buganda was the core for the spread of religion in the country. This was […]

Kyaggwe Ya Kuttunka na Buddu ku Ffayinolo Z’amasaza e Namboole

Ffayinolo y’omupiira gw’amasaza 2024 yakunyumira abalabi e Namboole nga batabani ba Ssekiboobo ab’essaza Kyaggwe battunka n’aba Ppookino ab’essaza ly’e Buddu. Bannakyaggwe bawera nkolokooti nti Buddu bukyanga erya myungu, leero eridde butanga, anti mbu Katonda waabwe abavuddemu, katisa abasudde ku Bakunja, eby’okubala ekikopo eky’okuna kye kiseera babifuuwe ku nninga kuba bbo luutu eno ne Katonda waabwe […]

Minisita Mayanja Alozezza ku Bukambwe Bw’abantu Lwa Kuvvoola Kabaka!

Minisita omubeezi ow’eby’ettaka, Sam Mayanja yalozezza ku bukambwe bw’abantu e Mukono mu ssaza lya Kabaka ery’e Kyaggwe bwe yakutte akazindaalo n’amala ebbanga erisoba mu ssaawa ng’ali ku Kabaka ajolonga. Minisita yategeezezza nti Kabaka talina ttaka mbu kkampuni ye eya Buganda Land Board nayo teri mu mateeka kukola ku ttaka ng’era ebigambibwa nti waliwo ettaka lya […]

Ssemakadde Akiise e Mengo, Yeeyamye Okutambulira Awamu N’Obwakabaka

  Pulezidenti omuggya ow’ekibiina kya bannamateeka ki Uganda Law Society, Isaac Ssemakadde oluvannyuma lw’okuwangula ekifo ky’abadde ayayaanira mu ggandaalo lya wiikendi, akyaddeko e mbuga ku Bulange e Mengo, ku kitebe ekikulu eky’Obwakabaka bwa Buganda. Ssemakadde afunye omukisa okusisinkana ku Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga ng’ono yeeyamye okutambulira awamu n’Obwakabaka mu nteekateeka z’obukulembeze bw’abavubuka. Ssemakadde […]

Aba Ffamire ya Tamale Mirundi Beetondedde Obuganda

Aba ffamire y’omugenzi, Joseph Tamale Mirundi beesitudde ne bagenda e Mengo ku kitebe ekikulu eky’obwakabaka bwa Buganda ne basisinkana Katikkiro Charles Peter Mayiga ne bamwetondera olw’omugenzi okuvvoola Kabaka wa Buganda, Ronald Muwenda Mutebi n’Obuganda bwonna. Bano mu nsisinkano ne Katikkiro ku Bulange e Mengo ku Lwokusatu ku makya baategeezezza nti oluvannyuma Tamale Mirundi okuva mu […]

Okufa Kwomukulu W’ekika Ky’e Kiwere – Bamwogeddeko Birungi Byereere

Oluvannyuma lw’okumala ku nsi ennaku 12 okuva lwe yaseerera (okufa) nga September 12, 2024, Omutaka w’ekika ky’e Kiwere, James Luwonko Mbale Zamuwanga, enteekateeka z’okutereka enjole ye zitandikiddwako. Enteekateeka zino zikulembeddwamu Katikkiro w’ekika Apollo Kyazze Mbale, ng’ono ategeezezza nti naye obukulu buno yakabumalako ennaku 12 zokka, ng’ekiraamo ky’omugenzi kye kyamuwadde ekitiibwa kino okusobola okutambuza ekika n’okukumaakuma […]

Kitalo! Omukulu W’ekika Omulala Afudde! Emiranga N’okwaziirana

Abaganda nate baguddemu encukwe bwe bafunye amawulire g’okufa kw’omukulu w’ekika omulala, Omutaka Luwonko Mbale Zamuwanga James, omukulu w’ekika ky’Ekiwere.  Omutaka Luwonko abadde mutuuze ku kyalo Kigombya mu divizoni y’e Mukono mu munisipaali y’e Mukono. Kigambibwa nti Omutaka yafiira mu ddwaliro ly’e Kawolo mu kibuga ky’e Lugazi ennaku 12 eziyise. Gibadde miranga na kwaziirana ku kkanisa […]

Obwakabaka Bwa Buganda Bukungubagidde Mutabani wa Wavamunno Eyafiiridde e Thailand

Joe Kayima Wavamunno, mutabani w’omugagga Prof. Gordon Wavamunno eyafiira mu ggwanga lya Thailand n’afa aziikiddwa ku biggya bya bajjajjaabe e Nakwero. Obwakabaka bwa Buganda bisinzidde mu kuziika kuno ne busaasira Prof. Wavamunno olw’okufiirwa mutabani we ono omukulu Joe Kayima Wavamunno. Obubaka obw’okusaasira okuva Embuga, Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga abutisse Omumyuka we Owookubiri Oweek. […]

error: Content is protected !!