Empologoma ya Buganda, Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II awadde abantu be ab’e Kyotera mu ssaza lye ery’e Buddu essanyu bw’asiimye n’abalambulako. Kabaka bano abatuseemu nga tebamanyi ne bamwekanga bwekanzi olwo buli omu n’ava ku by’abaddeko nga n’abamu kye babadde baaba nga tebakikkiriza. Magulunnyondo, Cuucu, Lukoma Nnantawetwa bano abadde abawuubirako nga n’abamu asiimye n’abasikako mu mikono, […]
| MENGO | KYAGGWE TV | Abaganda baagera nti Endiga “Endiga okusulika omutwe, tekigigaana kumanya mbuzi gye ziraze”, olugero luno lutuukira bulungi ku mbeera ebaddewo mu Buganda ebbanga Kabaka wa Buganda, Ronald Muwenda Mutebi II ly’amaze ng’obuamu bukosefu n’atuuka n’okutwalibwa ebweru w’eggwanga mu mawanga ag’enjawulo okuli n’e Namibia gye yafundikiridde olugendo lw’obujjanjabi. Kabaka ng’anaatera okukomawo […]
| MENGO | KYAGGWE TV | Ng’ebula ssaawa busaawa okutuuka ku bijaguzo by’amatikkira ga Kabaka wa Buganda, Ronald Muwenda Mutebi II, ag’omulundi ogwa 31, agagenda okubeerawo ku Lwokusatu nga July 31, bannakisinde kya Patriotic League of Uganda (PLU) bakiise embuga ne baleetera Beene amakula. Amakula ge baleese ag’emmotoka ekubyeko ente gabatikkuddwa Minisita wa Kabaka ow’obuwangwa, […]
Essanyu libugaanye Obuganda oluvannyuma lw’okufuna amawulire amatuufu ag’okudda kwa Ssaabasajja Kabaka wa Buganda, Ronald Muwenda Mutebi II ku butaka okuva e Namibia gy’amaze akabanga ng’awummuddemu. Okusinziira ku Katikkiro Charles Peter Mayiga, Ssaabasajja e Namibia era abadde mu mikono gy’abasawo abakugu ku nsonga z’obulamu bwe. Omutanda yayaniriziddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga, Nnaabagereka Sylvia Nagginda, Nnaalinnya Lubuga Agnes […]
Amasaza ag’enjawulo gakyagenda mu maaso n’okweriisa enkuuli mu mupiira gw’amasaza 2024 sso ng’ate n’ezikyavuya nazo nnyingi. Erimu ku gakyavuya y’e ttiimu y’essaza ly’e Buddu ng’eno ne gye buli eno ekyavuya. Bannabuddu bakubiddwa essaza ly’e Bugerere ku ggoolo 1-0 nga babadde ku bugenyi. Ng’eno ssande ya kusatu bukyanga empaka z’omwaka guno ziggyibwako akawuuwo, ne bannantameggwa b’ekikopo […]
President Yoweri Kaguta Musveni has addressed the controversial matter of a section of Buganda Clan Leaders (Abataka abakulu b’ebika) who were recently arrested in Namibia. The clan leaders were arrested on their way heading to the hospital where the Kabaka of Buganda, Ronald Muwenda Mutebi II is receiving treatment from. In a letter to the […]
Ekiwayi ky’Abakulu b’ebika mu Buganda abaawalaazizza empaka ne bagenda e Namibia okulaba embeera Kabaka gy’alimu kibabuseeko bwe babagaanye okumulaba. Bano baagenze beewera nti ka gwake, k’etonnye, teri kigenda kubaziyiza kulaba Kabaka era ne basuubiza nti baabadde baakukomawo e Uganda babuulire abantu ba Nnamunswa embeera gy’alimu, wabula bano bibakalidde ku matama bwe babagaanye wadde okumulengerako. Okuva […]
| MUKONO | KYAGGWE TV | Nga Bannakyaggwe bakyakungubagira abawagizi ba ttiimu y’omupiira ey’essaza ababiri abafiira mu kabenje akaagwa ku Ssande e Butambala, ate omu ku babadde ku bitanda nga bataawa afudde. Afudde ye Mulwana abasinga gwe babadde bamanyi nga Musiraamu ng’ono abadde avuga bodaboda ku siteegi ya Sombe mu kibuga Mukono wakati. Abawagizi abasooka […]
Obwakabaka bwa Buganda bufulumizza enteekateeka y’okukuza amatikkira ga Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II ag’omulundi ogwa 31. Omumyuka asooka owa Katikkiro Oweek. Prof. Twaha Kaawaase Kigongo ayanjudde olukiiko olugenda okuteekateeka okujjukira Amatikkira ga Kabaka ag’omwaka guno nga 31/07/2024. Ategeezezza nti omulundi guno okujjukira Amatikkira we kutuukidde nga waliwo okusoomozebwa olw’obukosefu bwa Kabaka wabula waliwo […]
“Ab’obusolya, bbo be Bwakabaka bwa Buganda, kiba kya bulyazamaanya, okubeera ng’abakozi b’Obwakabaka bwa Buganda be babuulira Obwakabaka bwa Buganda embeera Ssaabasajja Kabaka mw’ali. N’olw’ekyo tusazeewo ng’Abataka, okugenda e Namibia okulaba Kabaka waffe bw’afaanana,” Omutaka Mbirozankya. BYA KYAGGWE TV Wadde ng’olunaku lw’eggulo Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II yalabiseeko eri Obuganda ng’asinziira e Namibia gy’ali […]
