Abantu beeyiiye mu bungi ku kisaawe ky’Entebbe mu kuggalawo ttoonamenti eyategekebwa Stuart Lubwama ng’ono yeegwanyiza obubaka bwa Palamenti obwa munisipaali y’Entebbe.
Mu bamu ku baabaddewo ng’abajulizi nga ttiimu zino zibbinkana kwabaddeko Omubaka wa Busiro North Nsubuga Paul, Mmeeya wa Kyengera Town Council ate nga muyimbi Sir. Mathias Walukagga ne bannabyabufuzi ab’ekibina kya NUP n’abalala.
Ttoonamenti yeetabwamu ttiimu ezisoba mu 20 nga zeetoolodde munisipaali y’Entebbe nga yatuumibwa Lubwama Stuart Tournament era nga ttiimu ya Mayanzi okuva e Kigungu e baayambalaganye n’eya Katabi-Kitubulu era nga eddakiika 90 kyaweddeko nga ttiimu zombi zibala 0-0. Zino zaagenze mu kusimulagana ppeneti era Mayanzi ey’e Kigungu n’ekuba Kitubulu 5-4.
Wano Mmeeya Walukagga yasinsimudde abazze ku mupiira emiziki egitaalese muntu wansi ng’atudde ng’oluvannyuma ekyazzeeko be bakulembeze okwogerako eri abantu.
Oluvanyuma baatandise okugaba ebirabo okwabadde Sseddume w’e Nte eyaweereddwa omuwanguzi wa ttoonamenti eno n’ebirabo ebirala okwabadde ebikopo, emijoozi, emipiira n’ebirala.