Omuvubuka akozesa omutimbagano gwa Tiktok, Henry Nyanzi akwatiddwa n’aggalirwa ng’ogumulangibwa gwa kuvuma n’okuvvoola eyali Minisita omubeezi ow’amazzi era eyali omubaka wa palamenti owa Mukono North, Ronald Kibuule. Nyanzi nga ku Tiktok akozesa akawunti eri mu mannya ga Henric Brown ye yakwatiddwa n’aggalirwa ku poliisi e Mukono. Emboozi ya Ssaalongo John, Eyali Omusomi W’ebirango ku Leediyo […]
Bya Tonny Evans Ngabo Oluvannyuma lw’abakyala banneekoleragyange okutulugunyizibwa mu ng’eri ez’enjawulo omuli abasajja ababakozesa ne batabasasula, ababakaka omukwano, abagaana okukozesa kkondomu ne babasiiga ssiriimu n’ebirala omuli n’abamu abattiddwa nga bali ku mulimu, omubaka wa palamenti akiikirira abantu b’e Kyamuswa mu bizinga by’e Kalangala, Moses Kabuusu avuddeyo n’etteeka ly’agenda okuleeta mu palamenti n’ekigendererwa eky’okulungamya omulimu guno. […]
Eyali Ssenkaggale wa FDC, Rtd. Col. Dr. Kiza Besigye ne banne bwe bali mu kiwayi kya FDC Katonga bannyogoze oluvannyuma lw’akakiiko akafuga eby’okulonda okugoba okusaba kwabwe kwe baateekamu nga basaba okuwandiika ekibiina ky’eby’obufuzi ekipya. Dr. Besigye ne banne omwezi oguwedde bawandiikira akakiiko k’eby’okulonda nga basaba okuwandiisa ekibiina ky’eby’obufuzi ekipya ki People’s Front for Freedom (PFF). […]
Nakasi era abadde avunaana Ssempaka olw’okusiwuuka empisa, okweyisa ng’ekitagasa n’obutassa kitiibwa mu ntebe ye nga sipiika wa kkanso naye ng’omuntu akubiriza kkanso ya disitulikiti. Poliisi y’e Mukono ekutte n’eggalira kkansala akiika mu kkanso ya disitulikiti lwa kujeema kufuluma mu kkanso mwe yagobwa olw’okusiwuuka empisa. Bernard Ssempaka akiikirira ttawuni kkanso y’e Nakifuma-Naggalama mu kkanso eno y’akwatiddwa […]
Munnamateeka w’ekibiina kya National Unity Platform (NUP) George Musisi ajunguludde ebizze biyitingana nti agenda kuvuganya Ibrahim Ssemujju Nganda ku kifo ky’obubaka bwa palamenti obwa Kira Municipality. Waliwo ekipande Musisi n’enkambi ye kye bagamba nti si kitongole era si kituufu ekyafulumiziddwa nga kiraga nga bw’agenda okuvuganya Ssemujju wadde mbu kino si kituufu. Enkambi ya Musisi egamba […]