Kitalo! Abalwadde mu Ddwaliro e Buvuma Bagabana Ebisenge N’emirambo!!!

Dr. Crispus Nkoyoyo, nga y’amyuka akulira eddwaliro lino yannyonnyodde nti nabo ng’abasawo kibakosa okulaba ng’abantu ababa bavudde mu bulamu bw’ensi, tebalina kifo kitongole we bayinza kubatereka. Abatuuze, abakulembeze n’abasawo mu bizinga by’e Buvuma bavuddeyo ne balaga obutali bumativu olwa gavumenti okulemererwa okubazimbira eggwanika ku ddwaliro eddene lyokka lye balina mu disitulikiti erya Buvuma Health Centre […]

Ebola: Gavumenti Ekkirizza Eddwaliro lya Saidina Health Centre IV Okuddamu Okukola

Gavumenti ng’eri wamu n’abatwala eby’obulamu mu disitulikiti y’e Wakiso bagguddewo mu butongole amalwaliro abiri agaali gaggalwa olw’okuteeberezabwa okubaamu ekirwadde kya Ebola. Kuno kwe kuli eddwaliro lya Saidina Abubaker Health Centre IV e Wattuba  ku luguudo lw’e Bombo  wamu n’erya Aliimu Medical Clinic e Nansana-Nabweru nga gano gaali gagalwa minisitule y’eby’obulamu okumala akaseera  olw’okubeera n’akakwate ku […]

Abatuuze Ku Mwalo Gw’e Bugiri Mum Wakiso Balaajana Lwa Ddwaliro

Abatuuze abawangaalira ku mwalo gw’e Bugiri mu ttawuni kkanso y’e Katabi mu disitulikiti y’e Wakiso bawanjagidde gavumenti ng’eyita mu minisitule y’eby’obulamu okubateerawo eddwaliro mu kitundu kino ekiwangaliramu abantu abakunukkiriza mu mutwalo omulamba. Bano bagamba nti eddwaliro lya gavumenti mu kitundu kino lyakubataasa ku kutindigga olugendo olusukka mu kiro mmita omunaana nga banoonya obujjanjabi mu ddwaliro […]

Omubaka Kabuusu Ow’e Kalangala Aleeta Tteeka mu Palamenti Erinaalungamya Omulimu Gwa Bamalaaya

Bya Tonny Evans Ngabo Oluvannyuma lw’abakyala  banneekoleragyange  okutulugunyizibwa mu ng’eri ez’enjawulo omuli abasajja ababakozesa ne batabasasula, ababakaka omukwano, abagaana okukozesa kkondomu ne babasiiga ssiriimu n’ebirala omuli n’abamu abattiddwa nga bali ku mulimu, omubaka wa palamenti akiikirira abantu b’e Kyamuswa mu bizinga by’e Kalangala, Moses Kabuusu avuddeyo n’etteeka ly’agenda okuleeta mu palamenti n’ekigendererwa eky’okulungamya omulimu guno. […]

Abakyala Abatayagala Kuyonsa Mwerinde Kkansa W’amabeere!

BYA TONNY EVANS NGABO WAKISO | KYAGGWE TV | Nga Uganda yeegasse ku nsi yonna okukuza olunaku lw’obutebenkevu eri abalwadde mu kufuna obujjanjabi obutuukana n’omutindo (World Patients’ Safety Day), abakyala abatayagala kuyonsa balabuddwa okwerinda ekirwadde kya kkansa w’amabeere (breast cancer). Okulabula kuno kukoleddwa minisita omubeezi ow’eby’obulamu akola guno na guli, Hanifa Kawooya Bangirana ng’agamba nti ennaku […]

error: Content is protected !!