Katikkiro akubirizza abaami ba Kabaka ku mitendera gyonna okugoberera ennambika ezibaweebwa gavumenti ya Ssaabasajja Kabaka mu byonna bye bakola nga batuukiriza obuvunaanyizibwa obwabaweebwa.

Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga alambise abaami b’Amasaza ag’enjawulo mu Buganda okwewala okuteekesa mu nkola ebirowoozo byabwe wabula bagoberere ennambika ebaweebwa okuva embuga enkulu mu Bwakabaka.
“Ebirowoozo tulina bingi, naye buli omu tasobola kuteeka mu nkola ye kirowoozo ky’ayagala, tulina okubeera n’ennambika, oli yaŋŋamba nti tulime pamba ne mugamba nti naye mulungi naye katusooke emmwanyi bwezinaamala okunnyikira tunaatunuulira n’ebirime ebirala” Katikkiro Mayiga bw’alambise.
Owoomumbuga okulambika kuno akukoleredde ku mbuga enkulu eya Buganda ku Bulange e Mmengo, bw’abadde asisinkanye Abaami b’Amasaza n’Abamyuka baabwe.
Katikkiro akubirizza abaami ba Kabaka ku mitendera gyonna okugoberera ennambika ezibaweebwa gavumenti ya Ssaabasajja Kabaka mu byonna bye bakola nga batuukiriza obuvunaanyizibwa obwabaweebwa.

Kamalabyonna era yeebazizza Abaami b’Amasaza olw’emirimu gye bakola mu bantu ba Kabaka, kyokka abakuutidde okwongera okubukaza obukulembeze ku mitendera gyonna okuviira ddala ku byalo, emiruka, amagombolola okutuukira ddala ku massaza.
Abasabye okunyweza obumu ne be bakola nabo emirimu, okugabana emirimu gireme kwetuuma ku muntu omu, n’obuyiiya okukola ebyo ebivaamu ssente okuvujjirira emirimu gye bakola.
Mukuumaddamula alabudde Abaami b’Amasaza ku biseera by’eby’obufuzi eggwanga mwe liri mu kaseera kano, n’abasaba okubeera abeegendereza obutakuutira muntu yenna kadingidi wadde okubaako gwe bakotoggera wabula baanirize buli muntu awatali kusosola mu bibiina oba langi wabula batunuulire n’eriiso eggyogi abo abategeera ekitiibwa kya Kabaka.
Ono era afalaasidde Abaamasaza okulongoosa embuga zaabwe zirabike bulungi, bongere n’okukubiriza abantu okujjumbira enteekateeka y’Oluwalo nga bajjukira nti Buganda ku ntikko ssi ŋŋombo wabula nteekateeka ya kusitula Buganda n’abantu baayo okulongoosa embeera z’obulamu bwabwe.
Minisita wa Gavumenti ez’ebitundu mu Buganda Owek. Joseph Kawuki asinzidde mu lukiiko luno n’ayanjulira Katikkiro ebimu kw’ebyo ebituukiddwako mu mwaka ogumu oguyise okuva lwe yakoma okusisinkana Abaami bano era ategeezezza nti waliwo okugenda mu maaso mu nkola y’emirimu era Abaami b’Amasaza bakolagana bulungi, waliwo n’abantu abaalondebwa; Abalezi n’Abaseesa mu buli Ssaza abayambako Abaami b’Amasaza okutambuza obulungi emirimu.
Minisita Kawuki ategeezezza nti Abaami ab’Amasaza bonna Obwakabaka bwabawadde yinsuwa z’obulamu.
Akubirizza Abaami ba Kabaka okwongera okunyweza obumu, okulamula be batwala n’okufuba okulaba Federo ey’ebikolwa ng’eyongera okuggumira.
Ensisinkano eno yeetabiddwamu Abaami b’Amasaza okuva mu Masaza ga Buganda gonna 18 n’amalala agali ebweru wa Buganda.