Natasha agamba nti okunoonyereza kugenda kuddamu ku Mmande, nga basuubira okukwatayo n’abakungu abalala abawera abeenyigira mu mivuyo gino.
Embeera eyongedde okubeera ey’obukenke mu bakulu ku kitebe kya disitulikiti y’e Mukono oluvannyuma lwa nnabe eyabaguddemu ku Lwokutaano ku nkomerero ya wiiki ewedde, akakiiko k’amaka g’obwa Pulezidenti akalwanyisa obuli bw’enguzi aka State House Anti-Corruption Unit (SHACU) bwe kaazinzeeko ekitebe okukkakkana nga ssentebe w’akakiiko akagaba emirimu aka District Service Commission (DSC), Ying. Godfrey Kibuuka Kisuule ne sipiika wa disitulikiti, Betty Hope Nakasi bakwatiddwa.
Okusinziira ku mwogezi wa SHACU, Mariam Natasha, Ying. Kibuuka ne sipiika Nakasi baggaliddwa ku poliisi y’e Mukono ne baggulwako omusango gw’okuggya ensimbi ku bantu nga guli ku ffamiro nnamba GEF 213/2025 ng’eno gye babakuumidde okuva ku Lwokutaano n’okutuuka kati.
Natasha agamba nti okunoonyereza kugenda kuddamu ku Mmande, nga basuubira okukwatayo n’abakungu abalala abawera abeenyigira mu mivuyo gino.
“Okusinziira ku mawulire ge tulina, bangi ku bakulembeze okuli bammemba b’akakiiko, bannabyabufuzi n’abakozi ba gavumenti abeenyigira mu mivuyo gino, buli obujulizi gwe bunaaluma agenda kukwatibwa asimbibwe mu kkooti avunaanibwe ng abwe tuzze tukola mu disitulikiti endala,” Natasha bwe yategeezezza.
Okusinziira kw’omu ku ba SHACU Kyaggwe TV gwe yayogeddeko naye ku Lwokutaano n’atayagala kwasanguzibwa, yategeezezza nti sipiika Nakasi ogwamukwasizza kwe kukola obwa kayungirizi ng’okusinga y’abadde aggya ensimbi ku baagala emirimu okuzituusa ku bakulu mu kakiiko.
Ono era yategeezezza nti waliwo n’abantu abalala bangi ababadde bakola obwa kayungirizi nga bano bonna baakukwatibwa bavunaanibwe.
“Twakizudde nti bangi ku baafuna emirimu wano tebaayita mu makubo matuufu, abamu baagulirira, ate abalala ba bakyala oba baami b’abakulembeze ku disitulikiti ssaako ab’enganda. Wabula okunoonyereza bwe kunaggwa, abo bonna abataagoberera mitendera mituufu, baakusazibwamu ebifo byabwe biddemu birangibwe nga bayise mu mitendera emiuufu,” bwe yategeezezza.
Seeta High Schools @25: 100 Pictures from the Colorful Celebrations
Ng’akakiiko ka SHACU tekannavaayo, wiiki ewedde, waliwo omu ku baasaba emirimu eyeekubira enduulu ku poliisi y’e Mukono nga yeemulugunya ku Dr. Saad Wataba okuva mu Lugazi Municipality gw’agamba nti yamuggyako ensimbi obukadde 35 ng’amusuubizza ng abwe yali agenda okufuna omusava okuva mu kakiiko akagaba emirimu e Mukono wadde ng’ate kino tekyasoboka nga n’ensimbi baziridde.
Kaweefube w’ono okukomyawo ensimbi ze okuva ku Dr. Wataba yagwa butaka kwe kusalawo okwekubira enduulu ku poliisi e Mukono.
Okusinziira ku ssiteetimenti gye yakola ku poliisi y’e Mukono, Dr. Wataba yategeeza nti esimbi zino yazikwasa ssentebe w’eggombolola y’e Nakisunga, Mubarak Ssekikubo ng’ono mbu ye yali yayungirizi okutuuka ku ssentebe w’akakiiko, Ying. Kibuuka.
Ensonda ezeesigika ku poliisi ziraga nti oluvannyuma lw’okukwata Dr. Wataba, kati obwanga baabwolekezza ssentebe Ssekikubo wadde mbu ono mu kiseera kino yeekukumye tamanyiseeko mayitire.
Ensonda ku disitulikiti ziraga nti n’abakulembeze abalala bangi abasuubirwa okutwalirwamu mu kikwekweto kino omuli ne woofiisi ya CAO w’e Mukono, Elizabeth Namanda.
Bp. Kakooza Commissions Seeta University as Seeta Schools Mark 25 Years of Existence
Kigambibwa nti n’obukulembeze bwa disitulikiti buliko abantu be bwalagira okuwa emirimu nga tewali kugoberera bisaanyizo ng’eriyo n’abo abaweebwa emirimu ng’akasengejja kaali kabasudde wabula olw’okulagira kw’abakulu ku disitulikiti nga wano olunwe balusonga ne mu ssentebe wa disitulikiti, Rev. Dr. Peter Bakaluba Mukasa.
Ng’akakiiko ka SHACU tekannatuuka Mukono ku Lwokutaano, mu ngeri eyagugumula n’ettaka, n’ekanga ne buli omu, ssentebe wa disitulikiti, Dr. Peter Bakaluba Mukasa yavaayo ku mukolo ogw’okusaba ogwategekebwa ku munisipaali y’e Mukono ku Lwokusatu okwakulemberwamu Fr. Deogratias Kiibi, Bwanamukulu w’ekigo ky’e Mpigi eyasoma mmisa ey’okusabira abakulembeze ba munisipaali y’e Mukono n’alangirira nga bwe yali ayimirizza akakiiko akagaba emirimu ng’ensonga gye yaw abwe buli bw’enguzi bwe yayogerako nti bwali bususse okwegiriisiza mu nteekateeka eno.
Bakaluba yagamba nti akakiiko kano akayimirizza okumala ebbanga eritali ggere ng’agenda kulaba nga wabeerawo okunoonyereza era n’ayita abo bonna abagamba nti baabaggyako ensimbi eziri eyo mu bukadde 10, 20, 30 oba 40, baveeyo baggye n’obujulizi olwo abeenyigira mu kino basobole okukwatibwa bagololwe ettumba.
Akakiiko kano kaalayizibwa okugenda mu woofiisi mu August 2024 nga bino we bibeereddewo nga n’omwaka tekannaguweza mu woofiisi.
Disitulikiti y’e Mukono yamala emyaka ng’esatu nga terina kakiiko kagaba mirimu oluvannyuma lw’endooliito ezaaliwo wakati wa ssentebe Bakaluba n’eyali ssentebe w’akakiiko kano akaayita, Stella Kiondo ng’agamba nti waliwo abantu bangi abaali bamuwaako obujulizi nga bwe yabaggyako ensimbi ez’ekyogyamumiro n’atabawa mirimu.
Bano oluvannyuma lw’okwesika ebitogi okumala ebbanga eryo lyonna ne bagenda ne mu kkooti buli ludda ne luloopa emisango, abakulembeze abenjawulo baasitukiramu ku nsonga eno ne batuuza enjuyi zombi okuli Bakaluba ne Stella Kiondo ne babasaba bateeke ku bbali obukuku bwabwe wabula bakole ekyo ekitwala disitulikiti y’e Mukono mu maaso kuba abantu bangi abaali batalina mirimu ate nga n’ebifo bingi ebyali ebikalu sso ng’ate gavumenti buli mwaka yali eweereza ensimbi ez’okusasul abakozi eziri eyo mu buwumbi bubiri kyokka ng’omwaka oluggwako nga zizzibwayo nga tezikozeseddwa.
Gye byaggwera nga Bakaluba apondoose n’akkiriza Kiondo okubeera ku kakiiko kano nga mmemba era mu kulayiza akakiiko, yalaalika ssentebe Ying. Kibuuka ne bammemba abasigadde okwewala okuggya enguzi ku bantu abaagala emirimu.
Ne Ying. Kibuuka naye yeeyama nga bw’atagenda kulya nguzi wadde ng’ate kirabika okusinziira ku bigenda mu maaso ebintu byakyuka ate ne badda ku nguzi ne bakavvula nga tekyali n’abakuba ku mukono.