NAKASERO | KYAGGWE TV | Embeera y’akulira eby’obulamu mu munisipaali y’e Mukono, Dr. Anthony Kkonde eyateegeddwa abazigu ab’ebijambiya ne bamuteka ekyayungula amaziga oluvannyuma lw’okulongoosebwa omutwe ku Lwokuna kyokka abasawo n’okutuuka olwaleero tebakkiriza muntu yenna wadde ow’oluganda lwe okumulabako.
Kyaggwe TV ekitegeddeko nti Dr. Kkonde yalongooseddwa ku ddwaliro ly’e Nakasero ng’oluvannyuma lw’okuva mu theatre, abasawo baamututte butetereevu mu ICU nga n’okutuusa olwaleero tannamanya biri ku nsi.
Kigambibwa nti aba ffamire baaweereddwa ennaku ssatu okukkirizibwa okumulabako ssinga anaaba asobodde okutereeramu.
Okusinziira ku mumyuka w’omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire, Dr. Kkonde yalumbiddwa abazigu abaamutemye ebijambiya ku Lwokusatu ekiro bwe yabadde ava ku Jobiah Hotel e Mukono okusimbayo mmotoka mu ppaakingi ng’atambuza ebigere okugenda ewaka we.
Owoyesigyire yagambye nti poliisi yatandise omuyiggo gw’abazigu bano abagambibwa nti kitundu ku kabinja k’ab’ebijambiya abamaze ebbanga lya mwezi nga gumu nga batigomya munisipaali y’e Mukono nga bano batambulira ku pikipiki.
Ku kyalo kye kimu ekya Upper Kauga ne ku lunaku lw’e lumu, kigambibwa nti abazigu bano era baatemye n’omuwala Joan Namwombwe nga n’ono embeera ye si nnungi ng’ali mu ddwaliro e Mulago gye yasindikiddwa okulaba ng’afuna obujjanjabi obw’ekikugu.
RDC w’e Mukono, Hajjati Fatuma Ndisaba Nabitaka yalabudde Bannamukono okubeera obulindaala mu kiseera kino nga beewala ebifo eby’obulabe ssaako okufuba waakiri okutambulira mu bibinja ssinga obudde buba bubazibyeko nga baakutambula kiro.
Ndisaba agamba nti waliwo ebitundu eby’obulabe ebirina okwewalibwa mu kiseera kino mu budde bw’ekiro omuli Upper Kauga, ku ky’e Ntaawo, ku kiyita ku UCU, ekigenda ku Festino n’ebirala.