Minisita Cotilda Nakate Kikomeko ng'atikkira Nambaziira nga nnalulungi wa Buganda 2025.

Essaza Ly’e Buluuli Lyetisse Empaka Za Nnalulungi W’eby’obulambuzi mu Buganda

1 minute, 20 seconds Read

Nambaziira asinze banne 36 okuva mu Masaza ag’enjawulo nga bwe babadde bavuganya. Ono awereddwa emmotoka kapyata emuyambeko okutuukiriza obuvunanyizibwa obumwolekedde.

DNA Results Ashame Prof. Badru Kateregga’s Estranged Wife Jolly

N’essanyu eringi, Nambaziira ng’ali mu kapyata w’emmotoka gye yawangudde.

Empaka za Nnalulungi w’eby’obulambuzi mu Buganda 2025 zifundikiddwa mu kiro ekikeesezza olwa leero ng’essaza ly’e Buluuli bukya luba nga lwa mmindi lye lizeetisse.

Joan Nambaziira, Muzzukulu wa Mbaziira e Bulimu mu
Kyaggwe ow’ekika ky’e Nnyonyi nnyange y’asitukidde mu kapyata w’emmotoka oluvannyumya lw’okukuba byanne okuva mu masaza amalala bwe babadde battunka. Empaka zino ziyindidde ku Hotel African mu kibuga Kampala.

Ekifaananyi kya Kabaka ekyasiigiddwa Namwanje Joweria okuva mu ssaza Kyaggwe.

Mu bubaka bwe obumusomeddwa Minisita Cotilda Nakate Kikomeko, Nnaabagereka Sylvia Nagginda akubirizza abazadde okuwagira abaana baabwe n’okubayambako okuzuula ebitone n’obusobozi bwabwe obw’enjawulo, era babasigemu obuntubulamu.

Nambaziira asinze banne 36 okuva mu Masaza ag’enjawulo nga bwe babadde bavuganya. Ono awereddwa emmotoka kapyata emuyambeko okutuukiriza obuvunanyizibwa obumwolekedde.

Kampyata eyawanguddwa Nambaziira oluvannyuma lw’okusitukira mu kya Miss Tourism Buganda 2025.

Omukungu wa FUFA Yeesozze Olw’okaano Lw’okuvuganya ku Bwassentebe bwa disitulikiti y’e Mukono

Nabukenya Mercy ow’Engabi ava Kabula y’akutte eky’okubiri ate Navvubya Vanisha Leticia ava e Busujju n’akwata eky’okusatu.

Mu kwolesa ebitone, omu ku bannalulungi ba Buganda Namwanje Joweria okuva mu ssaza ly’e Kyaggwe yasiize ekifananyi kya Beene ng’ono yacamudde abalabi n’abalamuzi b’empaka olw’ekitone ky’okukuba ebifaananyi kye yayolesezza.

Nambaziira, eyawangudde ekya Nnalulungi wa Buganda ow’eby’obulambuzi 2025.
Ekifaananyi kya Kabaka ekyasiigiddwa Namwanje Joweria okuva mu ssaza Kyaggwe.
Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!