Hajji Kiyimba nga by'alaba takyabikkiriza oluvannyuma lw'okutunula ku layini emabega nga tewera.

Hajji Abdul Kiyimba Bamuwujjizza Akalulu mu NRM e Wakiso N’enkoona N’enywa

2 minutes, 10 seconds Read

Mbu bakira asaba oba kisoboka ettaka limumire naye nga buteerere! Okulonda kuno kwabadde Ku WAKISSHA e Wakiso ku Lwokutaano. Hajji Kiyimba yakkirizza okuwangulwa era bw’atyo n’asaba munne eyawangudde okutambuza emirimu gy’ekibiina obulungi.

Vvulugu mu Kulonda Kwa NRM e Mukono, Abadde Ssentebe Ssebaggala Adduse mu Kalulu

Bya Tonny Evans Ngabo |Wakiso | Kyaggwe TV | Hajji Abdul Kiyimba, ng’ono ye ssentebe wa NRM mu disitulikiti y’e Wakiso ekyamuguddeko teyakirabye nga kijja! Kiyimba baamukubye akalulu bwe yabadde avuganya ku kifo kye kimu n’agwa n’enkoona n’esima ettaka.

Kiyimba yabadde avuganya ne Moses Mayanja, ng’ono yamuwangulidde ku bululu 638 olwo ye kitawe n’afunayo obululu 86 bwokka. Wadde ng’amateeka g’okulonda okw’okusimba mu mugongo gagaana eyeesimbyewo okutunula emabega, Hajji Kiyimba oluvannyuma lw’okuwulira oluyogaano ku layini ya Mayanja nga lungi ng’ewuwe tawulirayo kanyego, yaludde ddaaki n’atunula emabega era wano amaanyi we gaamuweeredde n’atandika okutunula nga n’ekiddako takitegeera.

Hajji Kiyimba ng’atunudde emabega abawagizi abaabadde ku layini ne bamumalamu amaanyi.

Mbu bakira asaba oba kisoboka ettaka limumire naye nga buteerere! Okulonda kuno kwabadde Ku WAKISSHA e Wakiso ku Lwokutaano. Hajji Kiyimba yakkirizza okuwangulwa era bw’atyo n’asaba munne eyawangudde okutambuza emirimu gy’ekibiina obulungi.

Ng’essanyu alina lya mwoki wa gonja, Mayanja oluvanyuma lw’okulangirirwa ku buwanguzi yakakasizza nga bw’agenda okulwana obwezizingirire okulaba nga NRM eddamu okufuna obuganzi mu Wakiso nga bwe gwali edda nga kino waakukiragira mu kulonda kwa bonna okubindabinda ku ntandikwa y’omwaka ogujja.

Moses Mayanja eyawangudde obwa ssentebe bwa NRM e Wakiso ng’ali mu ssanyu.

Yasuubizza nti ebifo ebyalimu aba NRM mu kulonda okwaggwa ebyatwalibwa ab’oludda oluvuganya gavumenti mu kitundu kino, ayagala ng’ekibiina baddemu okubyeddiza.

Ku ntandikwa, ku bifo by’abavubuka kwabaddemu okusika omuguwa ne batuuka n’okusikangana ebitogi n’okwegwa mu bulago. Wabula poliisi yalwanye bwezizingirire okulaba ng’embeera edda mu nteeko.

Embeera eno yaviriddeko akalulu k’abavuba okusooka okuyiika  nga entabwe  yavudde  kw’omu ku beesimbyewo Luzinda Henry okulumiriza munne  Kajubi Henry okubeera nga  asussa  emyaka 35 egyikirizibwa okwesimbawo.

Poliisi ng’erwagana n’abavubuka abaabadde batabanguse.

Kajubi n’abawagizi kino baakiwakanyizza ne basimba nnakakongo okukkakkana ng’okulonda kuyiise omulundi ogusooka. Kino kyavuddeko okuyomba, okwesika ebitogi n’okwegwa mu malaka nga n’ekyaddiridde be baakuliddemu okulonda okusooka okukuyimiriza.

Mu balala abalondeddwa ye Ying. Mamerito Mugerwa ku kifo ky’omumyuka wa ssentebe, Nakabaale Patrick yalondeddwa nga ssaabawandiisi  kwossa ne   Steven Kabuye ng’ono yaliko mmeeya w’ekibuga ky’Entebbe eyalondeddwa ku ky’amawulire.

Court Turns Into Boxing Ring, Besigye’s Lawyers Storm Out in Protest

Hajji Moses Mayanja eyawangudde Hajji Kiyimba.

UDPF Recovers Two Illegal Guns from Civilians

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!